Omubaka wa parliament omukyala akiikirira abaliko obulemu mu ggwanga lyonna, Laura Kanushu Opori, asabye government ereete etteeka erikaka ebitongole byayo byonna okukifuula eky`obuwaze, okuwa abaliko obulemu emirimu.
Omubaka Kanushu bino abyogeredde mu ttabamiruka ategekeddwa banakyewa aba UK aid, bwebabadde bafundikira kawefuube wabwe ow’e myaka esatu, nga balwanirira abantu abaliko obulemu okufuna emirimu ekyenkanyi ng’abantu abalala.
Omubaka Kanushu wano wasinzidde n’asaba government ereete etteeka, nga liraga omuwendo ogw’essalira ogw’abaliko obulemu, buli kitongole kya government gwekitekeddwa okuwa emirimu.
Ssenkulu w’ekitongole kya International Disability Alliance IDA mu Uganda, Thomas Kyokuhaire, asabye abakozesa okukomya okusosola abaliko obulemu nga bagaba emirimu, nti kubanga nabo balina obusobozi bungi okubaako byebakola ate nebasobola okweyimirizaawo.
Ku mukolo guno Omwami wa Kabaka owé Buddu Pokino Jude Muleke aweereddwa ekirabo ekimusiima olwókwenyigira mu kawefube wókulwanirira abaliko obulemu mu mbeera ezénjawulo.
Bbale Mudashiru nga yakulira abaliko obulemu mu bendobendo lye Masaka, agambye nti omuwendo gw’abantu abaliko obulemu abafunye omukisa nebasoma gweyongedde okulinnya, nti wabula bakyasosolwa mu kufuna emirimu.
Bisakiddwa: Musisi John