
Kkooti enkulu mu Kampala egobye okusaba kwa munnakibiina kya FDC Rtd Col Dr Kiiza Besigye ne Lubega Mukaaku babadde bagala beyimirirwe bawoze nga bava waka, ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Taddeo Asiimwe abagambye nti baabuuka emitendera egigobererwa mu mateeka, bwebaddukira mu kkooti enkulu mu kifo kya kkooti ento ewulira emisango gyabwe. .
Omulamuzi wa kkooti ento ku Buganda Road Asuman Muhummuza yeyasooka okubamma omukisa okweyimirirwa, ngágamba nti kooti baali basusse okujifuula ekifo kyókuzannyiramu ebyóbufuzi, nti ngólubata nga baddayo bakola emisango gye gimu.
Wano Dr. Besigye ne Mukaaku webasalirawo okwekubira enduulu mu kkooti enkulu, nga bawakanya omulamuzi okubagaana okweyimirirwa.
Omulamuzi wa kooti enkulu Taddeo Asiimwe abawadde gabusa, nti omulamuzi eyagoba okusaba kwabwe ku kkooti ya Buganda Road yali mulamuzi wa ddaala erisooka, kyebandikoze kwali kuddukira ewoomukulu atwala kkooti eyo Chief magistrate, nebajulira ensala eyo sso si kumala gaddukira mu kkooti enkulu.
Bwatyo omulamuzi abalagidde okusaba kwabwe okukuzzaayo ewa Chief magistrate ku kkooti ya Buganda road, yaba akuwulira bwanagaana okubayimbula ku kakalu olwo balyoke bagende mu kooti enkulu.
Besigye ne Mukaaku baakwatibwa Police mu Kampala wakati, bwebaali balaga obutali bumativu ku bbeeyi yébintu eyekanamye mu ggwanga.
Baziddwayo mu nkomyo gyebamaze kati wiiki bbiri.
Olunaku olwénkya lwebasuubirwa okudda mu kooti ya Buganda road bateekeyo okusaba kwabwe.