
Paapa Francis I akwasizza Ssaabasumba wéssaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere, ekyambalo kyóbwassabasumba ekitongole (pulliam).
Emikolo gino gibadde mu kibuga Vatican ekya Rome, mu klezia ya St.Peter’s Basilica.
Ba Ssaabasumba abaggya 44 bebakwasiddwa ebyambalo byabwe, okubadde ne Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Ba Ssaabasumba bano bavudde mu mawanga 32.
Buli nga 29 June, eklezia ekuza olunaku lwábatuukirivu Petero ne Paul, era klezia lweyalonda okwambalizaako ba Ssaabasumba ababeera baakalondebwa, nga kikolebwa omulundi gumu buli mwaka.