
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akuutidde banabitone okuwa emirimu gy’abwe ekitiibwa bagikole n’obukugu kibayambe okugiganyulwamu ekiwera.
Katikkiro abadde mu nsisinkano nábakubi bémiziki gyebaatuuma egyé “Binyaanyanyaanya”, Mbaziira Tonny omukozi wano ku CBS RADIO ne munne bwebakola emirimu gy’obwa DJ Suuna Ben.
Katikiro abasabye n’abo obutesiba ku mulimu gumu ogwokukuba endongo, wabula bakoleyo n’emirimu emirala n’addala okulima.
Mbaziira Tonny ne Suuna Ben beyamye okusigala nga bawulirize eri Ssabasajja Kabaka, nebakubiriza abavubuka bulijjo okwewaayo mu byebakola okubiyiiyiza nókubiwa obudde bikule okusobola okubifunamu.
Bano era banjulidde Katikkiro ekitabo ekikwata ku bulamu bwabwe ekyawandiikiddwa Brian Paul Kakooza.