
Okuyingira eby’obufuzi kinokoddwayo ng’emu ku nsibuko y’obuvuyo obwetobese mu kulonda kw’obukulembeze bwabwe mu kibiina ekibagatta ki Uganda Musicians Association, government netuuka n’okukuyimiriza.
Minister wékikula kyábantu eya gender. Labour and social development Betty Among yafulumizza ekiwandiiko, ekiyimiriza okulonda kwábayimbi, okutuusa nga betereezezza, nga bataddewo nénkola ennungamu enagobererwa mu kulonda kuno, nga nábayimbi bonna mu ggwanga basobola okuwebwa omukisa okukwetabamu.
Wabula abayimbi okuyita mu kibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association bakalambidde nti bakutegeka okulonda kwabwe okuja mu busobozi bwabwe, nga bagamba nti okukuyimiriza kwandiba nga kuyingiziddwamu ebyóbufuzi.
Okulonda kwábayimbi kuzze kuyiika, ngábamu ku bbo bagamba nti kubadde kwetobesemu okubbira okuyita mu mutimbagano, ate abalala bagamba nti sibakufuna mukisa kukwetamu singa kutegekebwa mu kifo kimu ekya National Theatre nga bwekyabadde kiteekebwateekebwa.
Abayimbi abamu bawakanya enkola eyasooka okutegekebwa eyókuyita mu mutimbagano, nga bagamba nti erimu okubbira akalulu kungi, bagala kukozesa bukonge.
Ssemanda Mansoor amanyiddwa nga King Saha ne Ssanyu Cindy bebesowolayo okuvuganya ku bwa president bwékibiina kyábayimbi nábalala.
Waliwo abayimbi abalumiriza nti okulonda kwábakulembeze babwe kwetobeseemu ebyóbufuzi.
Robert Kyagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine yoomu kubasinze okunokolwayo nti okuvuganyakwe ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga kyayongera kusajjula embeera, ate nga yoomu agambibwa nti yeyasemba Ssemanda Mansoor amanyiddwa nga King Saha okuvuganya ku ntebe y’okukulembera abayimbi.
Kiyaga Hillary amanyiddwa nga Dr Hilderman, agambye nti abayimbi baali banyoomebwa nga tebayingirirwa munzirukanya ye mirimu gyabwe, wabula okuva Bobi Wine lw’eyayingira ebyobufuzi ate ne munne webavuganyanga mu kuyimba Bebe Cool nábeera kumpi nábakulu mu government, olwo embeera weyatandiikira ddala okukyuka.
Kiyaga agamba nti entalo eziriwo sizabayimbi kulemwa kulonda, wabula government eyagala omuntu aloondebwa ngémulinamu omukono ogwámaanyi.
Eddie Ssendi munnamawulire era omutunuulirizi w’ensonga zébyámasanyu,abadde ku CBS mu program eya Gakuweebwa Munno, nágmba nti government yensibuko y’obuvuyo bwonna obuliwo mu bayimbi.
Buli ewabeera abantu abegattidde awamu mu bibiina okusitula eddoboozi lyabwe, government zonna mu Africa tezitera kuzaagala.
Wano wewavudde emberebezi abayimbi nebatabulwatabulwa olwámaloboozi agava mu njuuyi ezenjawulo, okutuusa government lweyasazeewo okuyimiriza okulonda kwóbukulembeze bwábayimbi.
Wabula Moses Matovu omuyimbi mu Afrigo Band, simumativu eri bayimbi banne buli omu okwefaako nókukulembeza ensonga zómuntu kinnomu,nókwetwala nti buli omu sereebu era yasinga abalala nebalemwa okukolaganira awamu nti kyekibaviiriddeko okubeera mu mbeera y’okunyigirizibwa buli kadde.
Government bwesanga abantu nga betegese bulungi teyinza kubasobola, naye abantu abetwala okubeera ba seleebu nabakugu bakoze kinene okulemesa abayimbi okwekolamu omulimu ogulabika okukola ku nsonga zabwe nókutambulira awamu kitole.