Ttiimu yéggwanga eyómuzannyo gwa Rugby eya Uganda Rugby Cranes esitudde mu kiro ekikeeseza leero egenze France,ewategekeddwa empaka za Rugby Africa Cup.
Empaka zino zitandika okuva nga 1 okutuuka nga 10 omwezi ogujja ogwa July,2022.
Ttiimu eno eyabazannyi 28 etendekebwa Fred Mudoola.

Nga tenasitula yasoose kusiibulwa minister omubeezi owébyemizannyo Hamson Obua, ngaali wamu ne Ssentebe wa National Council of Sports Ambrose Tasobya e Lugogo.
Empaka zino zigenda kwetabwamu ttiimu 8, nga zonna zirwana okukiika mu mpaka zénsi yonna eza Rugby World Cup ezómwaka ogujja 2023 nazo zakubeera France.

Uganda egenda kuttunka ne Kenya, Namibia egenda kuzannya ne Burkina Faso, Zimbabwe ne Ivory Coast ate nga Senegal egenda kuzannya ne Algeria.
Abamu ku bazannyi 28 abagenze ne ttiimu eno ye Phillip Wokorach, Lawrence Ssebuliba, Ronald Kanyanya, Asuman Mugerwa, Pius Ogena, Solomon Okia, Ivan Magomu, Collin Kimbowa n’abalala.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe