
Ekibiina kya NRM kitandise enteekateeka zókuwandiisa bannakibiina abagala okwesimbawo ku bifo by’obubaka bwa parliament eyámawanga gómukago gwa East Africa eya EALA.
Akakiiko ka NRM katandise leero okutuuka nga 30 omwezi guno ogwa June, okuwandiika bonna abeeyagaliza ebifo bino nóluvannyuma basunsulwe.
Ssentebbe w’akakiiko ka NRM akebyokulonda DR Tanga Odoi aliko ekiwandiiko kyafulumizza nategeeza nti NRM erina ebifo 6, ku bifo 9 ebyábabaka bonna abakiikirira Uganda.
NRM erina ebifo 6 ngékibiina ekiri mu buyinza, ate ebibiina ebivuganya nebifunako 2, ate 1 kya mubaka alondebwa ku bwanamunigina nga talina kibiina.
Ababaka bano aba EALA balondebwa babaka aba parliament ya kuno.
Mu kiseera kino, ku babaka 9 abakiikirira Uganda mu EALA, , DP ne UPC zezirinayo ababaka ku ludda oluvuganya government, nga bano okusinga baawagirwa nnyo ababaka ba NRM.
Dr Tanga Odoi, agambye nti amannya gabanna NRM abanaaba bewandisizza okuvuganya, gagenda kusindikibwa mu kakiiko akookuntikko aka CEC gakubibwemu ttooki.
Oluvanyuma amannya gegamu gakusindikibwa eri akabondo kaababaka bannnakibiina kya NRM mu parliament bagakubeko akalulu.
Ate bbyo ebibiina ebirala ebiri ku ludda oluvuganya government okuli DP, UPC ne FDC ebirina ababaka mu parliament ya kuno, byo byamala dda okulonda abanaabikwatira bendera.
DP yalonda Gerald Siranda era ono takyava ku mikolo gya NRM okuperereza aba NRM okumulonda, ekiseera kyokulonda bwekinaaba kituuse, UPC yasemba Fred Ebil so nga FDC yalonda Harold Kaija.
NUP yo ekyafuuse kyesirikidde tenaba kubaako kyenyega ku nsonga eno.