
Ensonga zómukazi Natalia Namuli owe Kagadi agambibwa okuliyirirwa ensimbi akawumbi kamu nóbukadde 600 ku ttaka lye, byongedde okutabula akakiiko ka parliament akonoonyereza ku nsonga eno aka COSASE.
Ssentebe w’akakiiko kano Joel Ssenyonyi alagidde abasirikale ba police abatuula ku kakiiko kano, bagire nga bakwata era baggalire bannamateeka Richard Buzibira ne Kyle Lubega oluvannyuma lwókwogera ebitakwatagana ku nsonga eno.
Mu ngeri yeemu munabwe Amara Peter akyaliko ensonga zakyannyonyola akakiiko kano mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire.
Munnamateeka Richard Buzibira eyaali omusaale mu nsonga z’omukyala Natalia Namuli, alidde ebigambo bye abuulidde akakiiko ka Cosase nti omukyala ono wadde yeyasaako ekinkumu ku biwandiiko kweyali alina okufunira ensimbi, nti naye ssigwebaaziwa.
Richard Buzibira ne munne Kyle Lubega aba kampuni ya Lubega Buzibira and company Advocates bwebasooka okulabikako eri akakiiko nano ,baategeeza nti omukyala Natalia Namuli yasasulwa obuwumbi 2 mu mpeke.
Wabula Richard Buzibira bwakomyewo eri akakiiko kano ,ate byeyasooka okwogera ebimenyewo naagamba nti ensimbi zaaweebwa Warren Mwesigye, eyakkiriziganya nómukyala Natalia Namuli nti yaba awebwa ensimbi ezo.
Richard Buzibira agambye nti Natalia Namuli ne Warren Mwesigye baagenda mu office ye mu June wa 2020,omukyala ono nasaba nti ye awebwemu sente ezámangu obukadde 318 nezimuweebwa, olwo ye Mwesigye agende mu maaso nókugoba ku nteekateeka zókubanja government, era okusasula bwekwatuuka gwebaazikwasa.
Richard Buzibira agambye nti bweyabasasulwa akawumbi 1 n’ekitundu, ensimbi bazigyayo mu mpeke ,nebagyako ebitundu 10% ezaabwe zebaakolera nga bannamateeka,ezaasigalawo nebazikwaasa Warren Mwesigye mu mpeke
Joel Ssenyonyi wamu naakakiiko bewuunyiza engeri Munnamateeka Buzibira gyakyusizaamu ebigambo, n’engeri Warren Mwesigye gyayingidde mu nsonga zino,so nga mu kusooka yali tamwogerako
Munnamateeka Buzibira mukwenyonyolako, agambye nti amateeka agafuga bannamateeka gabagaana okuteeka mulwatu kalonda akwata ku ba customer babwe,era ye nsonga eyali yamugaana okumwogerako.
Wabula ne Amara Peter omusajja ayogerwako nti yeyettika nazaalawe Natalia Namuli okumuggya e Kagadi okumuleeta mu Kampala, okussa ebinkumu ku biwandiiko bannamateeka ba Lubega ,Buzibira and company Advocates byebaakozesa okufunirako ensimbi obuwumbi 2, agambye nti omukyala oyo teyawebwa nsimbi nga bannamateeka bwebogera.
Amara Peter agambye nti naye nga eyaleeta omukyala ono námuvuunulira nébiwandiiko, teyawebwa ku sente ezo wadde nakamu.
Amara Peter bwabuuziddwa engeri gyeyamanyamu nti nnazaalawe alina ettaka ,agambye nti yamukyalirako nga Nnazaala we kwekumunyumizaako nti yalina ettakalye lyeyali ateekateeka okuguza government, era nga waaliwo omupunta ayitibwa Sumbuusa nti yeyali akola ku byékyapa kye.
Akakiiko mukwetegereza ekyapa ekyogerwako,kazudde nti ekyapa olunaku lwekyafuluma, eggwanga lyali ku muggalo ,nga ne wofiisi z’ettaka zonna zaali nzigale.
Noomukyala Natalia Namuli olunaku Amara Peter lwayogerako nti lweyalinnya Taxi eyamuleeta mu Kampala, naamunona mu paaka okumutwala mu eri bannamateeka, aba Lubega ,Buzibira company Advocates ,eggwanga lyaali lumuggalo nga tewali mmotoka zalukale zaali zikkirizibwa kutambula.
Abantu mukaaga bebagambibwa nti nti baaliyirirwa enzimbi eziweza obuwumbi 10 nóbukadde 600, ku ttaka eryatwalibwa government.
Ku zino kwekuli akawumbi 1 nóbukadde 600 ezigambibwa nti zawebwa omukyala Natalia Namuli owe Buyaga Kibaale.
Kasiya Rwabukkurukuru owe Sheema obuwumbi 6 nóbukadde 430, Nagenda Stephen Peter owe Kibaale Bwanswa akawumbi 1, Busuulwa owé Buyaga akawumbi 1 nóbukadde 400, Yisika Lwakana owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 nóbukadde 125, ne Mugisha owe Buyaga Kibaale akawumbi 1 nóbukadde 149.
VVulugu yenna anoonyerezebwako akakiiko ka COSASE, kigambibwa nti yava ku yali minister wébyettaka, nga kati ye Kaliisoliiso wa government Betty Kamya okuwandiika ebbaluwa ngásaba ministry yébyensimbi okuwaayo ensimbi ezo eri abantu abo, wadde nga siyeyalina obuyinza obuwandiika ebbaluwa esaba ensimbi ezo.