
Abantu ba Ssabasajja okuva mu ssaza Bulemeezi bakiise embuga mu Bulange e Mengo, baleese oluwalo lwa bukadde bwa shilling 15 némitwalo 81.
Zino zivudde mu gombolola ttaano okuli Mutuba IX Kamungolo, Musaale Wakyato,Mutuba I Ngoma, Mutuba VIII Kikamulo,Mutuba II Katikamu Mukuma ne Wabusaana Mutuba V.
So nga waliwo ne munnabulemeezi Haji Umar Kyagulanyi atonedde obwakabaka obugaali bw’abaliko obulemu busatu.
Oluwalo luno lubatikuddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ajjukizza abantu ba Kabaka ekyobugagga ekiri mu kukuuma ettaka ,nabasaba balikozese mu ngeri esaanidde bekulakulanye.
Katikkiro ategeezezza Obuganda nti embalirira y’Omwaka gw’ebyensimbi 2022/2023 eyayisiddwa olunaku olweggulo eyóbuwumbi 157.8, yesigamye nnyo kukukola ebintu ebigasiza awamu abantu, okukyusa embeera zabwe.
Katikkiro atenderezza Abalemeezi olwokufuba okusimba emmwaanyi n’okuweerera abaana.
Mu ngeri yeemu abeebazizza olwókwagaza emiti emito Obwakabaka, nga bakiika nabo embuga, era naabasaba baleme kutyoboola ddembe lyabwe.

Minister Omubeezi owa gavumenti ezebitundu Owek Joseph Kawuki, ategeezezza Katikkiro nti abantu ba Ssaabasajja mu Bulemeezi bangi baayimiriza okwekwasa ebyaaliwo mu lutalo lwé myaka gye 80, olwaleeta government eno mu buyinza, nga kati essira baalizzizza ku nkulaakulana.
Omubaka akiikirira Bamunaanika parliament Robert Ssekitooleko, yennyamidde olwábantu abeyongedde okutigomya bannabulemeezi nga babagobaganya ku ttaka.
Omubaka agambye nti waliwo abatuuze bangi abatandise oufuuka ammomboze, olwókugobwa ku ttaka, abantu bayise bannantagambwako.
Annyonyodde nti waliwo abantu abaleeta ebipapula buli kadde nga balabula abantu okwamuka ettaka lyabamazeeko emyaka némyaka, nga babategeeza nga bwebaaligula, ku bantu bebatayogera bibakwatako.

Omumyuka owookubiri owa Kangaawo Nkonge Ddamulira Arooni, agambye nti obuwanguzi bwonna obutuukiddwako mu ssaza Bulemeezi, buva ku bumu obwolesebwa mu bakulembeze awatali kwetemamu.
Omukugu mu byenjigiriza Ssalongo Mukasa Ssemuwemba Herbert omutandisi w’essomero lya Mother Sarah Kindergarten nga yakulembeddemu bannyini masomero agakiise embuga, agambye nti baakwongera okwagazisa abaana ennono zabwe, naasaba abazadde obutalekerera basomesa mu nu𝝶𝝶amya y’abaana.