
Abayizi ba Makerere University abaasomerako mu ssomero lya St Henry’s College Kitovu bategese ekitambiro kya missa ekyenjawulo,okujaguza emyaka 100 bukyanga litandikibwawo.
Missa ekulembeddwa Rev Fr. Francis Kiggundu chaplain w’essomero lino.
Emikolo gyonna gibadde ku St Augustine Chapel esaangibwa mu Makerere University.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye yetabye ku mikolo gino.
Rev. Fr. Kiggundu agambye nti essomero lyabwe lirina ensonga okujaguza emyaka 100, kubanga lifulumizza abayizi ab’ensonga mu ggwanga abaliweesezza ekitiibwa.
Awadde eky’okulabirako ekya Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, n’abakulembeze abalala abaasomerayo.
Katikkiro agambye nti ebyenjigiriza birina okussibwako ddala essira okuzzibwa obujja, n’agamba nti ebyenjigiriza ebituufu by’ebyo ebiyamba abayizi okuzuula n’okuvumbula ebitone byabwe ate nebiirondoolwa.
Agambye nti abateekerateera ebyenjigiriza balina okuva ku by’okulowooleza mu by’okufuna ebyamangu, wabula bazimbe ebyenjigiriza ebinaagasa eggwanga lino n’emyaka emirala 100 egijja.
Omukulu w’Essomero Bro. Augustine Mugabo, agambye nti bazimbye ekizimbe kye batuumye “Community Centre” ng’ekijjukizo, mwe bagenda okutendekera abantu aba bulijjo mu kitundu kye Kitovu mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu.
Bagenda kubatendeka eby’emikono, obuyiiya, okukuuma ebitabo n’emisomo emirala.
Brother Mugabo mu ngeri yeemu asambazze ebibabadde biwulirwa St.Henry College Kitobu egenda kutandika okuwandiisa abayizi abawala, nti lirekeraawo okubeera ery’abalenzi bokka.
Vice Chancellor wa Makerere University Prof Barnabus Nawangwe asabye amasomero gonna, gongere amaanyi ku nkola y’okusomesa abayizi eby’emikono ,n’okutumbula ebitone byabwe, okubateekateeka okuvuganya obulungi mu nsi.