Ebiyitirirwa ebyaniriza omutanda bitandikidde mu Kyengera okutuukira ddala mu Buddu.
Abantu baakedde ku makubo abakulu n’abato.
Ssaabasajja asanze abantu bamulindiridde mu bunji, naava mu mmotoka ke natambuza ebigere nga bw’abawuubirako.
Aba bodaboda bawerekedde emmotoka za Kabaka okutuuka mu kabuga ke Kitemu.
Ku ssaawa nga musanvu n’eddakiika 50, Ssaabasajja abayingidde Buddu mun kitundu kye Lukaya, era nawo namungi w’omuntu abadde amindiridde wakati mu kukuba embuutu n’okunyenya mu galibenjole.
Nnyininsi yeyongeddeyo gyasanze enkuyanja y’abanti ng’emulindiridde mu Nnyendo.
Abantu baggyeyo enyambala eya buli kika.

Abakozi ba CBS Fm babadde yo mu Buddu okutuusa ku bantu ba Kabaka byonna ebibadde bigenda mu maaso nga Buddu ne Mawogola gaggulawo omupiira gw’amasaza.