
Amasomero gonna mu ssaza lya klezia erya Kiyinda Mityana gajaguzza emyaka 40, bukyanga ssaza lino litandikibwawo.
Essaza Kiyinda Mityana lyatongozebwa nga 22 November,1981 lyakutulwa ku ssaza ekkulu erya Kampala.
Abaddukanya amasomero,abagakulira n’abayizi bakungaanidde ku lutikko ye Ssaza, mu Kiyinda Mityana okwebaza Katonda,olw’emyaka 40 ng’ebyenjigiriza biyinda mu Kiyinda.
Ebijaguzo bitambulidde ku mulamwa ogugamba nti ”Tujaguza emyaka 40 – Nga tujulira Kristu, mu maka, mu masomero ne mu mirimu”.
Ebijaguzo bikulembeddwamu omusumba wa Kiyinda, era ssentebe w’abepisikoopi mu Uganda Bishop Joseph Anthony Zziwa.
Bishop Zziwa yebazizza abasomesa mu ggwanga lyonna olw’okwewaayo okugunjula abaana b’eggwanga, n’okubasigamu omutima gwe ddiini.
Asabye abantu bonna abakwatibwako okwefumiitiriza ku mirimu gy’abasomesa n’okwewaayo kwabwe, okubateerawo embeera ebasobozesa okutuukiriza obulungi okuyitibwa kwabwe.
Essaza lya Kiyinda Mityana lirimu amasomero n’amatendekero 391 agali ku musingi gw’eklezia.
Mulimu aga Nursery 62, primary 290, Vocational 01, secondary 34, Seminary 01, Technical 02, Primary Teachers College 01.
Omusumba Joseph Anthony Zziwa ategezezza nti ebijaguzo by’emyaka 40 byalina kubaawo omwaka oguyise ogwa 2021,wabula nebitaataaganyizibwa ekirwadde kya Covid 19, nga n’amasomero gonna gaali ku muggalo.
Kalidinaali Emmanuel Wamala yeyasooka okubeera omusumba wa Kiyinda Mityana nga lyakatongozebwa mu 1981, nekuddako omugenzi bishop Joseph Mukwaya, ne Bishop Joseph Anthony Zziwa aliko kati.