
“Ggoonya ebadde etwala munange nga ndaba ebadde emuwaalawala …….yiiyi egenda …… Ebadde etwala munange nga ndaba ebadde emuwaalawala……”
Ekyo ky’ekimu ku bitundu mu lumu ku nnyimba ez’e𝝶𝝶oma e𝝶𝝶anda ez’ayimbibwanga edda mu masomero.
Goonya, mu by’obuwangwa bya Buganda etwalibwa okuba nti yetambuliramu ogumu ku misambwa gya Buganda oguyitibwa Kitinda.
Ku luguddo lw’e Ntebe mu saza Busiro mu Ggombolola ya
Katabi Ssabaddu , kwekuli ekyalo Kitubulu – Kitinda.
Ekyalo kino kiri ku lubalama lwa Nnyanja Nalubaale nga kigambimbwa okuba nti kiriko omusambwa guno Kitinda ogutambulira mu Ggoonya.
Ekitundu ekyo era kirimu Ggoonya ezitawaanya ennyo abavubi.
Buli nga 17 omwezi ogwa Ssebaaseka (June) mu kisaawe ky’obutonde bw’ensi, lubeera lwakwefumiitiriza ku Ggoonya.
Goonya nsolo ya mu mazzi enyumirwa nnyo obulamu obwanamunigina, wadde oluusi zeegatta mu bibinja singa ziba zinoonya eky’okulya.
(‘Ggoonya zirya ki’ …kakyaaka nnyo mu kalango ka kampuni ya MTN.)
Ggoonya nsolo mulya nnyama, era n’abantu tebataliza singa ebaako gwekwasizza.
Abavubi bangi n’abawugira ku mbalama zennyanya baluguzeemu obulamu, nga balyibwa ggoonya.
Goonya bwezibeera ku lukalu ebiseera ebisinga zibeera zaasamye.
Johnson Puruka omusomesa w’obutonde bw’ensi ku Uganda Wildlife Conservation Education Center – Zoo e Ntebe yatunyonyodde nti Goonya okwasama zibeera zikendeeza ku bbugumu mu mubiri gwayo.
Ggoonya terina butuli ku mubiri gwayo obwandigiyambye okufulumya ebbumu eryo, kyeriva liyita mu kamwa.
Ggoonya etera okugerageranyizibwako abantu abakaaba, nebaleeta amaziga agagambibwa okuba aga ggoonya-Crocodile tears.
Peruka agambye nti Ggoonya etera okufulumya amaziga ngériko kyerya, nti kiva ku mpewo okuyingira mu maaso gaayo netuukira ddala mu kafo awatuula obunywa obuleeta amaziga.
Yadde ng’ebisolo ebisinga, obukulu bwazo bupimirwa ku myaka – ku Ggoonya sibwekiri.
Obuwanvu bwébitundu ku mubiri gwayo okuli amaaso, ennyindo n’omumwa kwebasinziira okumanya obukulu bwa Ggoonya.
Ggoonya enkazi ebeera nóbuwanvu bwa mita 1.5, ate Ensajja mita 2.
Johnson Puruka agambye nti mu nsonga z’omukwano, Ggoonya nsolo etapapira byakwegatta era erindira ddala okutuuka ng’ekuze .
Ensaja ekuzze esooka neekola amatwale gaayo, nga gano eba teyagala nsajja ndala esaalimbiramu.
Ggoonya ensajja etandika okunoonya enkazi.
Bwezisisinkana zisooka kwebuuza, nga bwezekoona ku mitwe gyazo mpola mpola.
Ggoonya enkazi bwesiima, ensajja ejirabiraawo olwo nayo ensanja neyongera okuwanika omutwe gwayo mu bbanga, ng’akabonero akalaga nti esiimye,era awo omukwano gwa Ggoonya zino zombi wegutandikira.
Kyokka singa Ggoonya enkazi eba tesiimye nsanja oluvanyuma lw’okubuzaganya kw’emitwe, enkazi ewuga neyeyongerayo, era ensajja okusalawo okwo ekusaamu ekitiibwa.
Bisakiddwa: Diana Kibuuka