
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuuse mu ssaza Buddu, okuggulawo empaka z’amasaza.
Namungi w’omuntu abadde akwatiridde ku makubo okuviira ddala e Kyengera okwolekera Buddu okwaniriza Empologoma.
Nnyininsi asiimye navaamu mu mmotoka n’atambuza ebigere mu bitundu bye Kyengera nga bwawuubira ku bantu ababadde bamulindiridde.
Essaza Buddu liwuuma mu kiseera kino, embuutu zisindogoma buteddiza.
Abaami ba Kabaka abakulira amasaza gano Pokino Jude Muleke owa Buddu ne Muteesa Muhammed Sserwadda owa Mawogola ,basabye abantu ba Ssaabasajja Kabaka okukuuma emirembe.
Empaka z’amasaza zaddamu okuzannyibwa mu 2004, okuva Obwakabaka webwazibwawo mu 1993.
Werutuukidde olwaleero nga Gomba yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi giri 5, mu 2004, 2009, 2014, 2017 ne 2020.
Buddu abaggulawo ne Mawogola olwaleero bakawangula ekikopo kino emirundi 2 mu 2016 ne 2021.
Ate nga Mawogola tewangulangako ku mpaka zino kyokka yakatuuka ku luzannya olwakamalirizo emirundi 2 mu 2004 ne 2009.
Buddu yakatuuka ku luzannya olwakamalirizo emirundi 4 mu 2016, 2018, 2020 ne 2021 naye newangulako ekikopo kino emirundi 2.

Omulundi guno ensako ewebwa ttiimu zino mu kwetegekera empaka zino yayongezeddwa okuva ku bukadde 5 okutuuka ku bukadde 6, kyonna ttiimu zongerwayo akakadde kamu kamu okusinzira ku mutendera kwezibeera zituuse.