
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo empaka z’emipiira gy’amasaza ga Buganda 2022.
Maasomooji atuuse ku kisaawe kya Masaka Recreation grounds ku ssaawa mwenda n’ekitundu.

Ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ,ba jjajja abataka b’obusolya,ba minister n’abaami b’amasaza.
Omuteregga asiimye nateeka omukono ku mupiira, n’oluvannyuna nagusimula omupiira mu maaso g’ennyiriri z’abazannyi ba ttiimu zombiriri.
Mu kusooka Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yakwasizza abaami b’amasaza bonna emijoozi tiimu zabwe mwezigenda okuzannyira empaka zino, amateeka agafuga empaka zino ne ceeke z’ensimbi ezitandikibwako.
Abaami b’amasaza bonna batadde emikono ku biwandiiko ebikakasa tiimu zabwe okwetaba mu mpaka zino.



Mu ngeri yeemu ne Katikkiro atadde omukono ku mupiira, awamu n’abaami b’amasaza.





Minister w’abavubuka ebyemizannyo n’okwewummuza mu Bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, atenderezza amasaza Buddu ne Mawogola olwengeri gyegoolesezzaamu omuzannyo omulungi.
Owek.Ssekabembe asabye buli ssaza okulwana obwezizingirire okuteekateeka ebisaawe byago bituukane n’enkulaakulana y’omupiira.

Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza Sulaiman Ssejjengo asabye abawagizi okwongera okuwagira omupiira gw’amasaza n’okusitula tiimu zaago.
Pokino Jude Muleke atwala essaza Buddu agambye nti eno ekyali ntandikwa, kyokka naalabula amasaza amalala okwerinda Buddu.
Muteesa Muhammed Sserwadda nga yatwala essaza Mawogola agambye nti kituukiddwaako leero buwanguzi bwennyini, bwefunye akabonero mu maaso g’Empologoma nagamba, nti keekabonero akalaga nti Mawogola tezze kusiika binyomo.

Abawagizi b’essaza Buddu bategezezza nti omupiira gubagendedde bubi nnyo okusinziira ku byebaabadde basuubira, kyokka bannabwe abe Mawogola bagambye bafunye buwanguzi obw’okugwa amaliri 0 – 0.
Empaka z’amasaza ga Buganda 2022 ziwagiddwa omukutu gw”ebyempuliziganya ogwa Airtel Uganda the smart phone network, Centenary bank, CBS ne BBS Terefayina.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Musa Kirumira