
Kooti ejulirwamu ejunguludde ensala ya kooti enkulu e Mubende eyali esazizaamu obuwanguzi bwa Joyce Bagala Ntwatwa ng’omubaka omukyala owa Mityana.
Abalamuzi Geoffrey Kiryabwire,Stephen Musota ne Christopher Gashirabake bebasazizaamu ensala y’omulamuzi Emmanuel Baguma owa kooti enkulu e Mubende, eyali asazeewo Bagala aggibwe mu parliament ng’agamba nti abaali bakuuma akalulu ke baagulirira abalonzi.
Ensala y’omulamuzi Baguma gyeyawa nga 22 October,2021, yasinziira ku mpaaba ya munna NRM era minister w’ebyettaka Judith Nabakooba bwebaali bafuganya ne Bagala.
Wabula kooti ejulirwamu etegezezza nti mu mpaaba ya minister Nabakooba, yalemererwa okuleeta obujulizi obukakasa nti ddala Joyce Bagala n’abaali bakuuma akalulu ke baagulirira abalonzi nga babawa ensimbi enkalu.

Omubaka Joyce Bagala ne munnamateeka we lord mayor Erias Lukwago basanyukidde ensala ya kooti, nebategeeza kati ye ssaawa omubaka okussa essira kukuweereza abantu b’e Mityana.