
Government etegeezezza kkooti enkulu nti akakiiko ka parliament tekalina buyinza busazaamu ndagaano eyakolebwa government ne kampuni ya Vinci okugula n’okutunda emmwanyi za Uganda.
Bino bibadde mu mpoza ssaabawolerereza wa government gyawaddeyo mu kkooti enkulu etawulula enkayana z’eby’obusuubuzi mu Kampala.
Agamba nti kkooti yokka yeyina obuyinza okusazaamu endagaano eno, wabula akakiiko ka parliament tekayina buyinza obwo.
Omwezi oguwedde akakiiko ka parliament ak’ebyobusuubuzi kaakola alipoota nga kawa amagezi nti endagaano eyakolebwa wakati wa government ya Uganda ne kampuni eya VINCI esazibwemu bunnambiro.
Akakiiko kebuuza ku bantu n’ebitongole ebyenjawulo nekakizuula nti yalimu ebirumira ebikontana n’amateeka.
Government okwewozaako leero kyaddirira bannamateeka era nga balimi ba mmwanyi Henry Byansi ne Micheal Aboneka, okukuba government mu mbuga z’amateeka, nga bawakanya endagaano eno nti emenya semateeka w’eggwanga.
Leero kkooti enkulu eragidde bannamateeka bano okuwaayo nabo empoza yabwe mu buwandiike, ate omusango guwulirwe nga 18th August omwaka guno 2022.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam