Akakiiko k’eggwanga akebyokulonda kayimirizza enteekateeka zokulonda obukiiko bw’abakyala olw’ebbula ly’ensimbi.
Ketaaga obuwumbi 35, wabula werutuukidde olwaleero kakaweebwa obuwumbi 15 ,zekagambye nti tezimala.
Enteekateeka z’okulonda obukiiko bw’abakyala zibadde zigenda mu maaso, nga werutuukidde olwaleero ,okuwandiisa abakyala okukola olukalala lw’abalonzi kubadde kwaggwa.
Enteekateeka z’abakyala ku byalo okwekeneenya enkalala zino nakwo kukomekerezeddwa olwaleero.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda ekiteereddwako omukono gwa sentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi, kiraze nti ministry y’ebyensimbi yategeeza akakiiko kano nti tewali nsimbi zakwongerayo nteekateeka eno.
Paul Bukanya omwogezi w’akakiiko kebyokulonda agambye nti n’olwekyo ,enteekateeka zakalulu kano ,ziyimiriziddwa okutuusa ng’ensimbi zirabise.
Okulonda kw’abakyala kubadde kwakubaawo omwezi ogujja ogwa July,ng’ekisanja ky’obukiiko obuliwo kigwako omwezi ogwomunaana omwaka guno.
Ekisanja ky’obukiiko bwabakyala kya myaka 8.
Kinnajjukirwa nti akakiiko k’ebyokulonda kano kennyini mu mwezi gwa march omwaka guno ,kaasinziira mu parliament ssentebe waako omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi, yalalabula nti obukiiko bw’abakyala buno bwandiremwa okulondebwa ,olwensimbi entono ezaali ziteereddwa mu mbalirira y’akakiiko k’ebyokulonda
Mu mbalirira eyo, ministry y’ebyensimbi yali etaddewo obuwumbi 19 bwokka, songa akakiiko kebyokulonda kaali ketaaga obuwumbi obusoba mu 90, okuteekateeka okulondebwa kw’obukiiko buno.