
Ababaka bómukago gwa Bulaaya ogwa European Union mu Uganda bakiise embuga, beyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwókutumbula enkulakulana mu bantu be.
Bakulembeddwamu Attilio Pacifici agambye nti omukago gwa Bulaaya tegutunuulira bibiina byabufuzii byokka, wabula okuzuula ebitawaanya abantu abébika byonna.
Ensinsinkano eno ebadde mu Bulange e Mengo, era nga baaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Agambye nti bagala okukolagana nóbwakabaka okwongera okusalira awamu amagezi nókunogera eddagala ebikosa abantu.
Attilio Pacifici annyonyodde nti basinze kutunuulira ensonga z’okulwanirira eddembe lyóbuntu, okutumbula ebyenjigiriza , ebyobulamu nÓkutumbula Obuwangwa nénnono.
Attilio era ayogedde ku bwetaavu obuli mu kuddaabiriza obutondebwensi n’okulwanyisa enjala eyinza okuva ku kutyoboola obutondebwensi.
Katikkiro Charles Peter Mayiga aliko ensonga ezénkizo z’abanjulidde zagambye nti zisaanye zikolebweko mu bwangu ddala, ku lwenkulaakulana ya Buganda ne Uganda eyawamu.
Mubaddemu ensonga zéddembe ly’obuntu , abantu okugobaganyizibwa ku ttaka, nti nga kino kikolebwa olwó bulagajjavu mu bakwasisa amateeka ne kooti.
Katikkiro ategeezezza nti Uganda eyolekedde akaseera akazibu akomujjuzo gwábantu oguva ku kuzaala ennyo, kyokka nga bagobaganyizibwa ku ttaka.
Asabye omukago gwa Bulaaya okukwasizaako Uganda efune entekateeka ennu𝝶amu eyókuteekerateekera abantu baayo abémirembe egijja, nga nóbutonde bwensi mwóbutwalidde.
Bisakiddwa: Kato Denis