
Guno gwe mulundi ogugenda okubeera ogwokubiri, nga tiimu ya Uganda eya Crested Cranes ezannya mu mpaka za Africa Women Cup of Nations 2022.
Uganda yasooka kuzeetabamu mu nwaka gwa 2000, wabula teyava mu kibinja.

Mu ba ddifiri 40 CAF beyalonze okulamula mu mpaka zino, munnaUganda Shamirah Nabadda yoomu ku baddifiri 16 abagenda okubeera mu kisaawe wakati.

Empaka zino era zigenda kukolanga akaku𝝶unta ak’okusunsulamu amawanga ga Africa 4, agagenda okukiika mu mpaka z’ensi yonna eza FIFA Women World Cup ezinabeera mu Australia ne New Zealand omwaka ogujja 2023.
Wasigaddeyo ennaku 7 okutuuka ku mpaka ez’omwaka guno 2022, ezigenda okubeera e Morocco, okuva nga 2 okutuuka nga 23 July.
Zigenda kuyindira mu bisaawe 3, kuliko ekya Stade Muhammed V ekisangibwa mu kibuga Casablanca era nga kituuza abantu emitwalo 45,891.
Ekisaawe kya Prince Moulay Abdellah ekituuza abantu emitwalo 45,800.
Ekisaawe kya Stade Moulay Hassan ekituuza abantu omutwalo 12,000, nga byonna biri mu kibuga Rabat.
Empaka eziyise zibadde zetabwamu ttiimu 8, wabula kati zeyongeddeko obungi ziri 12.
Enteekateeka yókwongera ku tiimu yali yakutandika mu mwaka gwa 2020, wabula nezisazibwamu olwékirwadde ki Covid 19.

Ttiimu y’eggwanga eya Crested Cranes yeemu ku tiimu 12 ezigenda okuvuganya mu mpaka zino, era yasitudde olunaku lw’eggulo okugenda mu kibuga Marrakech gye yagenze okukuba enkambi gy’eneava okugenda mu kibuga Rabat ewagenda okuyindira empaka.
Crested Cranes mu mpaka zino eza Africa Women Cup of Nations 2022, eri mu kibinja A n’abategesi aba Morocco, Burkina Faso ne Senegal, era yakuggulawo ne Senegal nga 3 July mu kisaawe kya Prince Moulay Abdellah Stadium.

Ekibinja B mulimu Cameroon (indomitable Lionesses), Zambia, Tunisia ne Togo ate nga ekibinja C mulimu Nigeria, South Africa, Burundi ne Botswana.
Empaka zino zigenda kubeera za mulundi gwa 14, zaatandika mu 1991.

Nigeria yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi giri 11, ate era yerina ekikopo ekisembyeyo kyewangudde emirundi esatu egy’omudiri𝝶anwa mu 2014, 2016 ne 2018.
Amawanga okuli Burundi, Togo, Burkina Faso ne Botswana zigenda kwetabamu omulundi gwazo ogusooka.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe