
Abafumbo abagattirwa mu lutikko e Lubaga nga begattira mu kibiina kya Lubaga Cathedral Tuesday Class Alumni Association basisinkanye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, nebamwanjulira enteekateeka zebalina ezókutereeza obufumbo nókunyweza amaka.
Abafumbo bano bakulembeddwamu omuyima wékibiina kyabwe Rev.Fr. Achilles Mayanja, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro asinzidde ku mukolo guno naawa abafumbo amagezi, okubeera ekyokulabirako mu nkulaakulana y’eggwanga nga bassa ekitiibwa mu maka,n’okukolera awamu emirimu omuva ensimbi.
Katikkiro akinogaanyizza nti Obwakabaka bwa Buganda buwagira Obufumbo ne ssekuwagira yenna, kubanga y’empaji sseddugge etandikirwako enkulaakulana n’ensa mu bannansi.
Omuyima w’ekibiina kya Tuesday Class Alumni Association Rev Fr. Achilles ayanjulidde Katikkiro emiramwa kwebatambulira omuli okukuumira abafumbo mu maka agatebenkedde, okukuliza abaana mu ddiini, okutabaganya abaagattibwa nebaawukana n’ensonga endala nnyingi ezokuumira amaka awamu ezezigenda okuzza Buganda ku ntikko.
Rev Father Achiliz Mayanja asabye abantu ab’enzikiriza ezenjawulo okukomya okwekwasa obusongasonga omutali, abalowooza nti enjawukana mu diini tebakkiriza kugattibwa.
Bahati Benard nga ye ssentebe wa Tuesday Class agambye nti ekyatandisaawo ekibiina kino mu mwaka gwa 1996, kwali kubangula n’okuteekateeka abafumbo, okukuuma ekkula lyóbufumbo námaka nga manywevu.
Ekibiina kino kirimu abafumbo abasengekeddwa okusinziira ku mwezi mwebaatattirwa, okuli aba January, February March okutuuka ku december.

Ba memba mu Tuesday Class Alumni Association bawaddeyo obukadde bwa shilling za Uganda bubiri, okuyambako mu nzirukanya y’emirimu gyóbwakabaka.
Mu ngeri yeemu basiimye Radio ya Ssabasajja CBS olw’obuweereza obusukkulumu eri Eklezia, nga ekwaasiddwa akulira enzirukanya y’emirimu ku Radio ya Beene Omuk. Robert Kasozi.