Okunoonyereza okukoleddwa ekitongole ky’obwannakyewa ekitakabanira obw’enkanya ku mbeera z’abantu wamu n’ebyenfuna ki Initiative For Social and Economic Rights (ISER), kulaze nti abaana bangi abafunye embuto nebazaala nga tebannetuuka tebaweereddwa mukisa ogw’okuddayo okusoma.
Okusinziira ku Joshua Kisawuzi omukwanagana w’emirimu mu Kitongole kino ekya ISER, embeera y’okukotoggera abaana abazaalidde ku myaka emito okuddayo okusoma esinga mu districts okuli Mukono, Buikwe, Wakiso n’endala.
Joshua Kisawuzi agamba nti abaana bano abazaalidde mu massomero ku myaka emito wakiri bandibadde baweebwa omukisa gw’okusoma eby’emikono, bibayambe okwetandikirawo emirimu okusobola okweyimirizaawo n’okulabirira abaana bebazadde.
Bano basinzidde ku Colline Hotel mu kibuga Mukono mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa ekitongole kino ki ISER, ku ngeri y’okulwanyisaamu ekizibu ky’abaana abazaala nga tebannetuuka.
Okukubaganya ebirowoozo kuno kwetabiddwamu ne Bannamawulire abakolera mu Greater Mukono, nebannyonyola embeera gyebasanagamu abaana abali mu byalo abazaala nga tebanetuuka, ng’abamu bazadde babwe baabagoba ewaka, abalala bali mu mbeera ekaabya amaziga ng’abasajja abaabafinyisa embuto babaateeka mu buyumba nebabasuula eyo.
Akulira eby’enjigirizza mu district eye Buikwe Musaasizi Kizito Julius bwabadde aggalawo olukungaana luno, agambye nti ekizibu ky’abaana abafunye embuto nebazaala nga tebannetuuka kikosezza nnyo eby’enjigirizza mu district eno eye Buikwe, n’asaba abazadde n’abasomesa okukolera awamu okutaasa obulamu bw’abaana abo.
Munnamawulire Sseruyange Christopher era Kansala akiikirira eggombolola ye Ngogwe era avunaanyizibwa ku by’enjigirizza, n’okusitula embeera z’abantu ku lukiiko olukulembera district eye Buikwe asomoozezza ekitongole kino ki ISER okuteeka bannamawulire ku mwanjo mu mirimu gyekikola.
Bagala bakolere wamu naddala nga baluubirira okulondoola abaana abo abazaala nga tebanetuuka.