
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyaabakazi eya Crested Cranes, esitudde akawungeezi ka leero ku ssaawa 12 okuva ku kisaawe e Ntebe, egenze Morocco okwetaba mu mpaka za Africa Women Cup of Nations ez’omwaka guno.
Crested Cranes etambulidde mu nnyonyi ya Ethiopian Airlines nabazannyi 26 wamu n’omutendesi George William Lutalo.
Ekibinja kyonna kikulembeddwamu Agnes Mugena akulira omupiira gwabakazi mu FUFA.
Ttiimu eno egenda kutuukira mu kibuga Marrakech gy’egenda okukuba enkambi okumala ennaku 10, n’oluvanyuma eyolekere ekibuga Rabat ewagenda okubeera empaka zino.

Mu mpaka zino Uganda Created Cranes yatekebwa mu kibinja A n’abategesi aba Morocco, Burkina Faso ne Senegal.
Uganda egenda kuggulawo ne Senegal nga 3 July, ezeeko Morocco nga 5 July, esembyeyo Burkina Faso nga 8 July,2022.
Empaka za Africa Women Cup of Nations zigenda kubeerawo okuva nga 2 okutuuka nga 23 July,2022 mu kibuga Rabat ekya Morocco.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe