
Police mu Kampala ekutte Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP, ku musango gw’okutiisatiisa minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Acheng.
Lewis Lubongoya akwatiddwa olwa leero wamu ne ddereeva we Agaba Gideon Joseph, era kati bakuumibwa ku police ye Nateete.
Patrick Onyango ayogerera police mu Kampala n’emirirano agambye nti Lewis Lubongoya omusango yaguddiza mu district ye Omoro.
Kigambibwa nti yali Lubongoya bweyali atambulira mu mmottoka ey’ekika kya land Cruiser UAS 490S ng’ennaku z’omwezi 25 may,2022 mu nteekateeka ez’okuddamu okulonda omubaka wa Omoro yatiisatiisa Dr.Jane Ruth Acheng okumutusaako obulabe.
Onyango ategezeza nti kati bali mu nteekateeka ez’okutwala David Lewis Lubongoya mu district ye Omoro, gyagenda okuvunaanibwa emisango egya muggulwako.
Wabula webuwuungeredde kitegerekese nti ayimbuddwa ku kakalu ka police.