
Eyali Senkulu wekitongole kyennyonyi mu ggwanga ekya Uganda Airlines Cornwell Muleya kyaddaaaki ayimbuddwa ku kakalu akénsimbi akakadde kamu nekitundu ezobuliwo.
Muleya avunaanibwa omusango gw’okuzimuula ebiragiro bya kalisoliiso wa government wabula abyegaanye.
Olunaku lweggulo ekitongole kya kalisoliiso wa government kyákutte Muleya , nga kigambibwa nti kyamuweereza ekibaluwa ki bakuntumye, nga bamuyita yewozeeko ku mivuyo egigambibwa nti yagizza mu kiseera ngákulembera Uganda Airlines, wabula ntu omukulu nagana okugendayo okwewozaako.
Emisana gya leero Muleya atwaliddwa ku kkooti ya Bugada Road era omulamuzi wa kkooti eno kwekumuggulako omusango gwokugyemera ebiragiro bya kalisoliiso wa government gweyegaanye, era ngáyita mu munnamateeka we Charles Nsubuga kwekusaba okweyimirirwa.
Ayimbuddwa ku kakalu era kkooti ya Buganda road nemulagira okuwaayo passport ye, ate nabantu 4 abamweyimiridde nebalagibwa okusasula ensimbi obukadde 50 buli omu, singa Muleya agaana okudda mu kkooti nga 25th omwezi ogujja ogwa July.
Munnamateeka wa Muleya Charles Nsubuga agambye nti si kituufu nti omuntu we yazimuula ebiragiro bya kalisoliiso wa government nga bwebamulumirirza.
Kinnajjukirwa mu April w’omwaka guno, minisita webyentambula Gen.Katumba Wamala yakwata ku nkoona Muleya nabakungu abalala mu kitongole ky’ennyonyi, ngabalanga kwenyigira mu mivuyo egitali gimu mu kitongole kino.