
Radio y’Omutanda CBS fm yenyumiriza nnyo mu nteekateeka ez’ebyemizannyo ezenjawulo mweyise okukyusa ku mbeera z’abantu, mu myaka gino 26 gy’ewezezza olwaleero nga ewereza Obuganda ne Uganda yonna.
Mu mwaka gwa 2005 CBS yatandikawo akazannyo k’obwongo akokuddamu ebibuuzo ebikwata ku byemizannyo aka CBS Bbingwa.

Abaketabamu babuuzibwa ebibuuzo ku by’emizannyo gya wano mu ggwanga n’ensi yonna.
Mu Bbingwa abawanguzi bawebwa ebirabo ebyanjawulo, omuli ensimbi enkalu, pikipiki, TV n’ebiralala.
Akazannyo kano okuva lwe kaatandika abantu abazze bawangula bakoze ebintu ebibayambye okukyusa ku mbeera zabwe.

Bangi bafunye emirimu ku mikutu gy’amawulire egyenjawulo, abalala beyambisizza pikipiki zebafunye okukyusa ku mbeera zabwe.
Namakula Annet ye mukyala eyasooka owangula Bbingwa mu 2019.

Kasujja F Roberto yawangula mu 2015, Mukasa Joakim eyawangula mu 2014 nabalala bangi.
Bbingwa w’omwaka guno 2022 ayawuddwamu emitendera gya mirundi esatu.
Bbingwa wa Mabingwa wakwetabwamu abantu 40, Bbingwa extra ebibinja 12 nga buli kibinja kirimu babiri babiri, ne Bbingwa Toto aneetabwamu abaana abatasussa 17.
Program ya Bbingwa 2022 egenda kutandika nga 27 June, ku mukutu gwa CBS Emmanduso ekiro, okuva ku ssaawa nnya mu Program Akaati k’ebyemizannyo.

Ku nkomeroro y’enteekateeka eno Abawanguzi bakuweebwa ebirabo omuli, ensimbi enkalu, Booda Booda ne School Fees.
Mu myaka gino 26 era CBS ebadde nsaale nnyo mu kutumbula empaka z’omupiira gw’ebika by’abaganda wamu nez’amasaza ga Buganda.
Werutuukidde olwaleero ng’empaka z’amasaza zezimu kuzisinga ettuttumu mu Uganda ne ku semazinga wa Africa.
CBS bebamu ku bavugirizi abatandika n’empaka zino nga ziddamu mu 2004.

Okuva mu mwaka ogwo 2004 CBS empaka z’amasaza eziweereza butereevu okuva eyo ku bisaawe emipiira gye gibeera gizanyibwa.
Kino kyongedde obuwagizi n’ettuttumu ly’empaka zino nezituuka n’okuvamu ebitone ebigenze ku ttiimu y’eggwanga, club ezenjawulo wano mu Uganda n’ebweru wa Uganda.