Abakozi ku radio CBS FM bajaguzza olwa Radio eno okuweza emyaka 26, nebeyanza Ssaabasajja Kabaka okubawa emirimu.
Bakulembeddwamu Ssenkulu Omuk. Michael Kawooya Mwebe.

Babadde mu lukiiko olwenjawulo lwebategese okukuba tooki mu mirimu gyabwe,n’okwongera okukuuma omutindo gwa CBS mu mpeereza n’okukulaakulanya abantu ba Kabaka nga bayita mu polojekiti ez’enjawulo.

Oluvannyuma abakozi basaze kkeeki nebagyemiisa, era nga buli kibinja kisaze keeki okusinziira ku mwaka buli omu gweyayingiriramu CBS.















