Police eriko abantu bana bekutte nga kigambibwa nti babadde bakola ebyokulya nebabitabikamu enjaga, olwo nebabiguza abayizi ku masomero ag’enjawulo.
Abakwate kuliko Masanga Racheal, Kasozi Suluman,Kaye Josua ne Mbabazi Jovia.
Okusinziira ku mwogezi wa Police Fred Enanga, abakwate babadde balina ekakolero kabwe mu kitundu kye Kkungu Kira division mu Wakiso, gyebabadde bakolera eby’okulya ebyo.
Babadde basiika kabalagala, bbagiya,daddies, biscuits, Cookies awamu ne butto gwebasiika okuteeka mu nva amanyiddwa nga ‘apeta’ nebabisaamu enjaga.
Bano okukwatibwa waliwo abayizi ku ssomero erimu ery’abawala eryabadde n’akabaga, abawala kkumi nebasangibwa n’ebyokulya ebyo, wabula ng’enneyisa yabwe yabadde siyabulijjo.
Abawala bano bwebaabuziddwa akana n’akataano nebategeeza nti eby’okulya bino bibadde bibayamba okukyamuka, nebawulira ng’abali bulamu bulala.
Fred Enanga agambye nti bano bebaabayambye okubatuusa ku bantu bano abana ababadde babaguza eby’okulya ebyo.
Annyonyodde nti ebikolwa bino byeyongedde okukula mu masomero so nga byabulabe eri obulamu bw’abaana bano abakyali abato, nti kubanga bali wakati w’emyaka 13 – 19.
Agambye nti engeri eby’okulya bino gyebisabikibwamu ya mutindo gwa waggulu era nga kizibu kyakubitegeera nti birimu enjaga.
Ab’ebyobulamu bagamba nti omuntu alidde ebintu ebyo ebitabikiddwamu enjaga afuna okukosebwa ku mutima, okwonoona obwongo,okulumwa emitwe,batandika okuba nga tebakyalaba bulungi , okufuna amaanyi agabawaga okukola effujjo n’okulwana wamu n’okwekalakaasa.
Fred Enanga asabye abasomesa n’abayizi okulondoola eby’okulya abayizi byebatwala ku masomero, nti kubanga bangi babadde bagifudde business, era nga babisuubula mu bungi nebabiguza bayizi bannabwe.