
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu mu Buganda naddala abalimi bazzeewo ebibiina by’Obwegassi, kibasobozese okuba n’eddoboozi eryawamu mu kugereka ensimbi eziva mu bulimi.
Katikkiro ali mu ssaza Bulemeezi alambula balimi ba mmwanyi mu nkola ya Mmwanyi terimba.
Bw’abadde mu maka g’Omutongole w’ekyalo Magere Timothy Ssemyano, Katikkiro agambye nti okunnyikiza obumu lye kkubo, Buganda kwerina okutambulira, okusitula embeera z’abantu baayo.
Katikkiro mungeri yeemu asabye abalimi okwewala abakozi abamala galima okufunamu ensimbi,wabula bakozese abalini abalina abagala kyebakola.
Kityo Hamfrey nga ye Ssentebe w’ekibiina ekigatta abalimi b’emwaanyi ekya Mmwanyi terimba farmers group Bulemeezi,agambye nti balina essuubi eryokugaziya ekibiina mwebali okutuuka ku Bantu 100, n’Okutandikawo ekyuma ekisunsula emmwanyi.Omwami w’egombolola ya Mutuba X Ssemuto Kasule Ronald, yebazizza abakulembeze okussa ebbali enjawukana zabwe ez’ebibiina by’obufuzi nebakolerera enkulaakulana y’abantu.
Omubaka omukyala akiikirira Nakaseke mu lukiiko lw’eggwanga olukulu Sarah Najjuma atenderezza katikkiro olw’okuwanga abantu ba Kabaka essuubi nebatatuula kulera ngalo.
Katikkiro mu kiseera kino akyatalaaga essaza Bulemeezi okwekeneenya abalimi b’emwaanyi.