
Ekifo ekirumbiddwa kiyitibwa Pasifik parking.
Akulira okunoonyereza ku police ye Bukasa agambye nti okunonyereza ku bubbi buno kutandikiddewo, wabula ng’akuuma ekifo baakubiddwa kalifoomu tebamanyi biri kunsi.
Agambye nti byebakafunawo biraga nti ababbi bano basoose kwefuula abazze okunywa omwenge mu kifo ekisanyikirwamu ekiriraanyeewo era nebagulira abamu ku bakuumi omwenge,okukakkana nga babakubye kalifoomu.
Ababiddwako pikipiki zabwe bagamba nti ekifo kino kikuumibwamu pikipiki ezisuka mu 70,naye nga omuwendo gwa pikipiki ezibiddwa gukyekebejebwa.
Bagamba nti pikipiki zino zibaddemu obuuma obuzirondoola,wabula ababbi baasoose kubuggyamu nebabulekaawo nebeyongerayo.
Bisakiddwa : Sharif Lukenge