
Abakulira omukago ogugatta abasomesa ogwa UNATU mu disitulikiti ye Mpigi baggaddewo amasomero gonna agabadde gakyagenda mu maaso n’okusomesa sk ng’abasomesa abasinga bediima okusomesa okutuusa nga government ebongezza emisaala.
Abasomesa bagamba nti ebbeeyi y’ebintu yekanamye tebakyasobola kwetusaako bintu ebyetaagisa mu bulamu obwa bulijjo, nga kwotadde n’okubasuubiza okubongeza omusaala okuva mu 2019 wabula tetuukiriza.
Mu kibuga kye Mpigi bagadde amassomero 3 okuli Mpigi UMEA, St Kizito Mpigi ne Kkonge P/S.
Ssentebe wa UNATU mu district ye Mpigi Wokulira Emmanuel agambye nti basazeewo okukola ekikwekweto ku basomesa ababadde bakyesisiggirizza, nti kubanga bonna abasomesa balina okubeera obumu n’okukuuma eddoboozi lyabwe.
Omukiise ku lukiiko lwa UNATU era nga atuula ku kakiiko akateesiteesk aka UNATU Wangala John agambye nti amassomero mangi gabadde gagaddewo, kyokka ekyaliyo agabadde gaajeema nga gasomesa.
Wabula wadde guli gutyo,government egamba nti abasomesa basaanidde okulindalindako embeera y’eby’enfuna etereere mu ggwanga, era nti bakwongezebwa omusaala gyebujja.
Olukiiko lwa ba minister olwatudde okwongera okukuba tooki mu nsonga eno, lwayongedde okulagira ministry essatu okuli ey’eby’ensimbi, ey’eby’enjigiriza neeyabakozi okwongera amaanyi mu nteeseganya n’abasomesa ku nsonga yeemu, nookubawooyawooya okuddayo ku mirimu.
Dr. Joyce Moriku Kaducu, minister omubeezi ow’eby’enjigiriza ebisookerwako agamba nti bakizudde ng’abasomesa naddala mu district ezisinga ate okukola obubi mu by’enjigiriza naddala mu bukiika kkono bwa Uganda neebuvanjuba, ntu bebasinze okukalambirira mu keedimo.
Akediimo wekajidde nga wakati emyezi ena gyokka ng’abayizi bazeemu okusoma, oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga tebasoma olw’omuggalo gwa Covid 19.