Emyaka 26 beddu nga radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS FM (Central Broadcasting Services) eyuguumya empewo z’ebyempuliziganya mu Uganda.
Leero ennaku z’omwezi ziri 22 June,2022.
Bwerwali bweruti nga 22 June,1996 eddoboozi lya CBS FM ku mukutu ogwa 88.8 neritandika okuwuluguma.
Ssaabasajja Kabaka neera yasiima naatandikawo omukutu ogw’okubiri ogwa 89.2 CBS Emmanduso radio y’abavubuka ab’omulembe Omutebi .
CBS ebisinga okujoogerwako kwekuba nti ekoze omulimu munene okutuukiriza ekiruubirwa ekyagyitandisawo, ng’etandikira ku ky’okuba eddoboozi ly’abantu eryettanirwa emirembe gyonna.
Ssaako okutuukiriza ebigendererwa okuli okutuussa obubaka bw’obwakabaka bwa Buganda eri abantu bonna ,okutumbula embeera z’abantu ba Buganda nga etambulira mu nnono ,obwensimbu, obuyiiya ,empereza ey’omutindo,obwerufu,obumu n’obukozi.
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II,emirundi mingi azze yebazza radio ye olw’okutuusa obubaka eri abantu be omuli okutumbula eby’obulamu,eby’obulimi,obutonde bwensi,n’enkulakulana nnyingi zeyettanidde.
Omuli okutuusa eddoboozi ly’Omutanda eri abantu be okulwanyisa mukenenya, sickle cell,Fistula n’endala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,agamba nti naye mu myaka 9 gyamazze ng’akutte Ddamula, CBS FM emukoledde omulimu munene nnyo okutuusa amawulire agaffa embuga eri abantu ba Ssemunywa.
Katikkiro anokoddeyo enkola ya Mmwanyi terimba gy’agambye nti erina esuubi ddene okukyusa obulamu bw’abantu mu byenfuna, ate n’okulima emmere emala.
Akulira enzirukanya y’emirimu ku CBS era nga y’omu ku bakozi abaasookera ddala nga radio ya CBS etandika Omuk Robert Kasozi,agambye nti ng’ogyeko okutuusa amawulire eri Obuganda, Uganda ne nsi yonna okutwaliza awamu CBS erina ebintu ebiwerako ebitali byakumpewo byekoze.
Anokoddeyo okukulakulanya abantu nga eyita mu nteekateeka za CBS –PEWOSA abantu nebayiga okufissa ku sente zebafuna, nebaterekako ate nga bwebewola okwetandikirawo business.

Annyonyodde nti bingi CBS byetuseeko era ebirijoogerwako mu byafaayo, wewaawo ng’eyise nemukusoomozebwa okutali kumu naddala lweyaggibwa ku mpewo okumala omwaka mulamba mu September wa 2009 okutuuka mu 2010.
Wabula olwadda ku mpewo mu october 2010 yagenda mu maao n’okuweereza eggwanga era n’enso yonna okutwaliza awamu.

Era nga mu kiseera kino buli muntu waali mu nsi zonna ewali amayengo ga ‘internet’ asobola okuwuliriza CBS okuyita ku mikutu gyayo egyenjawulo.
CBS Ogiwulira ngooli ku radio yo, okuyita ku ssimu yo ne computer, ku mutimbagano (website) yaayo WWW.CBSFM.UG butereevu n’olondako 88.8 oba 89.2 n’ebintu ebirala bingi ebiri ku mukutu n’obimanya.
Youtube: cbsfm official
Tiktok: Cbsfm
Twitter : Cbsfm
Instagram: Cbsfm
facebook: Cbsfm
Facebook: Cbs emmanduso
Abawuliraza ba CBS ebegattira mu kibiina kya CBS Funs club, nabo bebazizza abakulembeze ba CBS ssako nabawereza ba radio eno olwokugikuumira waggulu, ate n’okubakumakuma okwekulakulanya nga bwebawuliriza CBS.

Abasuubuzi abegatira mukiibina kya KACITA –Uganda , nga bakulembeddwamu Hajji Issa Ssekito , agambye nti CBS ebakoledde omulimu munne okukuba abantu business zabwe mu maaso nebaziteegera
Abamu ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka abazze bawangula empaka z’e Ntanda ya Buganda, ng’eno ye pulogulamu omuva omuzira mu bazira nabo bebazizza CBS.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Bulemeezi era nga ye muzira mu bazira wa 2009, Kangaawo Omulangira Mulondo Ronald era nannyini w’essomero lya St.Peter’s Bombo Kalule ,yebazizza Ssaabasajja Kabaka olwokulengerera ewala natandikawo radio eno.

Jane Nakiyingi maama w’omwana Maria Gorreti Nabbuto, CBS gweyayamba natwalibwa mu India okulongosebwa omutima , agambye nti Leediyo ya CBS talina ngeri yonna gyayinza kugyebaza era neyebaza abagyikulira n’abaweereza bonna.

Cbs ng’oggyeko okukulakulanya abantu b’omutanda, etegese n’ebivvulu bingi mweyita okusanyusa abantu naddala omukolo gw’Enkuuka oguggalawo omwaka buli nga 31 December, mu nkuuka ebeera mu lubiri e Mengo.
Era nga kino kyatandikirawo mu 1997 nga CBS eweza omwaka gumu gwokka ogw’obukulu netandikawo ekivvulu ekyayitibwanga ekitoobero.
Era ebitoobero ebyakwata ennyo abantu omubabiro mwe mwali ekitoobero Ndombolo ekya 1998, Ekitoobero Mbaga 1999, ekitoobero Mulongooti, n’ebitoobero ebirala bingi ebyaddirira okuli Kitoobero Fundukulu,agabudde,Musanyusa, Asiimye, ekitobero makunale n’ebirala.