
Ttiimu y’eggwanga eya Basketball eya Silverbacks egenze mu kibuga Cairo ekya Egypt okwongera okutendekebwa okwetegekera empaka za FIBA World Cup Qualifiers omwetoloolo ogw’okubiri.
Uganda mu mpaka zino eri mu kibinja A omuli Nigeria, Mali ne Cape Verde.
Mu mwetoloolo ogusooka Nigeria yeyakulembera n’obubonero 5, Mali obubonero 5, Uganda obubonero 4 ne Cape Verde obubonero 4.
Mali yakuba Uganda ku bubonero 76 – 66.
Uganda yakuba Cape Verde obugoba 7 7- 74.
Nigeria yakuba Uganda ku bubonero 95 – 69.
Omwetololo ogw’okubiri gugenda kubeerawo okuva nga 1 okutuuka nga 3 omwezi ogujja ogwa july mu kibuga Kigali ekya Rwanda.
Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Basketball mu Uganda ekya FUBA, kikakasizza nti Silverbacks mu nkambi gyekubye e Cairo, egenda kuzannya emipiira egy’omukwano 3 okuli Rwanda, Misiri ne Jordan.
Silverbacks okuva wano mu Uganda egenze nabazannyi 4 abazannyira wano mu ggwanga, okuli James Okello, Jimmy Enabu ne Tonny Dribella ne Ivan Muhwezi.
Bano bagenda kwegattibwako abazannyi abalala 9 abazannyira emitala wa Mayanja okuli Jonathan Komagun, Ishmail Wainwright, Robinson Opong, Adam Seiko, Arthur Kaluma, Deng Geu, Emmanuel Womala, Kieran Zziwa ne Emmanuel Mugenga.
Empaka za FIBA World Cup qualifiers zigendereddwamu okusunsulamu amawanga ataano okuva mu Africa, aganaakiika mu mpaka z’ensi yonna eza FIBA World Cup ezinabeera mu Indonesia, Japan ne Philippines omwaka ogujja 2023.
Mu mwetololo ogw’okubiri Uganda Silverbacks egenda kuzannya ne Mali nga 1 July, ezeeko Cape Verde, olwo esembyeyo Nigeria nga 3 July.
Oluvanyuma lw’omwetololo ogw’okubiri, ttiimu 3 ezinaaba zikulembedde ebibinja ebina, zigenda kutekebwa mu bibinja ebirala 2, nga buli kibinja kirimu ttiimu 6 okusunsulamu endala 5 ezigenda mu mpaka z’ensi yonna.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe