
Abakulembeze b’amawanga g’omukago gw’obuvanjubwa bwa Africa basazeewo nti eggye ly’omukago lisindikibwe bunnambiro mu Democratic Republic of Congo, okuzza emirembe mu bitundu bye Kivu ne Ituri.
Babadde mu maka ga president w’e Kenya era ssentebe w’omukago mu kibuga Nairobi ekya Kenya.
Abakulembeze bano basoose kufuna alipoota eyakoleddwa abadduumizi bamaggye abemawanga gano omusanvu, eyavudde mu kwetegereza ekiragiro kya ssentebe w’omukago era omukulembeze wa Kenya Uhuru Kenyatta ekyokusindiika eggye ly’omukago mu DRC.
Alipoota eno eyanjuddwa omudduumizi w’eggye lya Kenya General Robert Kibochi,era nga ye sentebe w’abadduumizi b’amaggye g’amawanga gannamukago.
Mu nsisinkano eno,abakulembeze b’amawanga gano balagidde okuyimiriza mbagirawo okulwanagana ,obubinja obulina emmundu obuli mu kulwanagana busse wansi ebyokulwanyisa ,eggye linnamukago okuggya emmundu nebyokulwanyisa ebirala ku bubinja n’abantu ababirina mu bukyamu, nga likolera wamu n’eggye lya DRC.

Abakulembeze bano bakinoogaanyiza nti obubinja obunagaana okuwaayo ebyokulwanyisa n’okuva mu nsiko, bwakwangangibwa mu ngeri yakinnamaggye.
Amaggye gannamukago gaweereddwa ebiragiro ku ngeri gyegagenda okutambuzaamu emirimu ,nga gakukolera wamu n’eggwanga lya DRC mu bikwekweto byonna.
Abakulembeze bano bannamukago era balagidde amawanga nabantu mu mawanga agagugulana (Rwanda ne DRC) bakome okukozesa olulimi olusiga obukyayi, ekiyinza okuvaamu ekitta bantu.
Abakulembeze b’amawanga 6 bebetaabye mu nsisinkano eno ,okubadde owa Kenya Uhuru Kenyatta ,owa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni ,Felix Tshishekedi owa DR Congo, Paul Kagame owa Rwanda, Salvar Kiir owa South Sudan ne Everiste Ndayishimiye owa Burundi ,songa ye owa Tanzania Samia Hassan Suluhu yekka yatabaddewo akiikiriddwa omubaka wa Tanzania mu ggwanga lya Kenya.

DRC ne Rwanda babadde tebakyalimira ddala kambugu. DRC eze erumiriza Rwanda okuwagira obubinja bwabayeekera obujojobya government ya Felix Tshesekedi.
Presisent Felix Tshishekedi yakyogedde lwatu mu ggandaalo lya wiiki.ewedde nti munne owa Rwanda Paul Kagame ekigendererwa kye kyakwezza ekitundu kya Kivu ne Ituri , nti olwo yezze ebyobugagga ebiri mu bitundu ebyo.
Wabula president wa Rwanda abyegaanye ebimwogerwako.
Abakulembeze bano bombi Tshesekedi owa DRC ne Paul Kagame bwebatalima kambugu baasisinkanye mu Kenya.
Kinajjukirwa nti DR congo yagaana dda ekyokukiriza amaggye ga Rwanda okwegatta ku maggye gannamukago agagenda mu DRC,tekimanyiddwa oba nga mu ggye ly’omukago munakkirizibwamu abanyarwanda.