
President wa Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni n’owa DRC Felix Tshesekedi batuuse mu Kenya okwetaba mu lukiiko lw’abakulembeze gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ,ogwa east African community , olugenda okusalawo ku kiteeso ky’okusindika amagye g’omukago okwaƞanga obubinja bw’abayeekera abajojobya Democratic Republic of Congo.
Ensisinkano eno yayitiddwa president wa Kenya era ssentebe w’omukago gwa East African community Uhuru Kenyatta.
Uhuru Kenyatta yalagira eggye linnamukago okuyiwa amagye mu DRC mu bitundu bye Ituri , North Kivu ne South Kivu okuggya emmundu nebyokulwanyisa ku bibinja by’abayeekera byonna ebiri mu bitundu ebyo.

Abakulembeze b’amawanga ga East Africa 6 bebetabye mu nsisinkano eno,omu yekka owa Tanzania yatazze wabula aweerezza omubaka.
Abakulembeze bano kuliko owa Kenya Uhuru Kenyatta kabakyaza era ssentebe womukago gwa East Africa, Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni president wa Uganda, Salver Kiir Mayadet owa South Sudan, Evariste Ndayishimiye owa Burundi, Felix Tshesekedi owa Democratic Republic of Congo ne Paul Kagame owa Rwanda bwebatalima kambugu ne DRC.
Omukulembeze wa Tanzania Samia Hassan Suluhu akiikiriddwa omubaka wa Tanzania mu Kenya John Stephen Simbachawene.
President Museveni e Kenya agenzeeyo ne minister omubeezi owensonga z’amawanga amalala Okello Oryem nabalala.
Ensisinkano eno mwebagenda okusalirawo ku ky’abayeekeera abali mu DRC.
Obubinja buno kuliko aka M23 akaawamba ekitundu kye Bunagana ku nsalo ya Uganda ne DRC.
Mu ngeri yeemu DRC ne Rwanda ennaku zino bali ku mbiranye, nga DRC erumiriza Rwanda okuwagira abayeekera ba M23.