Ministry evunanyizibwa ku butonde bwensi nentobazi erangiridde nti etandise enteekateeka z’okwerura empenda z’entobazi zonna okwetoloola e ggwanga, okuzitaasa ku bantu abongedde okuzesenzamu .
Ministry okulangirira bweti egamba nti abantu bangi besenzeza muntobazi kyoka webagezaako okubasengula nga bekwasa nti tebamanyi ntobazi za government wezitandikira nawezikoma kwekusalawo okuzerura zitegerekeke bulungi.
Addumira police yobutonde bwensi mu ggwanga lyonna Commissioner Okoshi Simon Peter,abyogedde alambula entobazi zomugga Mayanja mu gombola ye Gombe mu Nansana minicipality mu district ye Wakiso.
Ategezezza nti balina ekiragiro okuva eri omukulembeze we ggwanga,ekibalagira okakasa nti entobozi zonna tezesenzamu bantu.
Commissioner Simon abadde wamu nakakiiko akalwanyisa enguzi mu makka gwobwa president aka Anti Corruption Unit.
Oluvanyuma batuuzizza olukiiko nabatuuze abaliranye entobazi zino, nebabalabula okwewala okwonoona entobazi, era nga NEMA sibakwatibwa nsonyi kusengula bbona abanalemwa okugondera ekiragiro.
Abakulu babuulide abatuuze nti basobola okukozesa entobazi mungeri etazisanyawo, nga okulunda ebyenjanja ne mirimu emirala egitazonoona.
Kinajjukirwa nti ne president Museveni mukwogera kwe okwasembayo mukusoma embalirira ye ggwanga yakisimbako amannyo a
tagenda kukkiriza muntu yenna kusanyawo ntobazi.