Emyaka giweze amakumi 40 bukyanga omulwadde asooka azuulibwa mu Uganda, ng’alina obulwadde bwa siriimu.
Omulwadde eyasooka yazuulibwa mu bitundu bye Kasensero ekiri mu Rakai.
Bingi ebikoleddwa okumanyisa abantu ebikwata ku bulwadde buno, okubwewala,okwekebeza n’okumira eddagala singa ozuulibwa ng’olina akawuka, ate n’okufaayo obutasiiga bagalwa abalala.wamu n’abaana abali mu mbuto zabannyabwe.
Mu kiseera kino gg’esigadde ennaku ntono okutuuka ku misinde gy’amaazalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno, egya Kabaka Birthday Run 2022, ekitongole ekya Uganda Aids Commission, kyebazizza Omutanda olw’amaanyi gaatadde mu kulwanyisa akawuka ka mukekenenya.
Guno omwaka gwa kusatu ng’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gitegekebwa ku mulamwa gw’olulwanyisa siriimu
Aba Uganda Aids Commission, bagamba nti Ssaabasajja Kabaka nga tanakwasibwa mumuli gw’okulwanyisa mukenenya mu Africa, obulwadde mu Uganda bwali ku bitundu 7.3%.
Mu mwaka ogwasooka ng’akwasiddwa omumuli bwakka okutuuka ku bitundu 6.2.
Werutuukidde leero nga bwongedde okukka butuuse ku bitundu 5.4%.
Nnyininsi Sseggwanga azze awa obubaka obwenjawulo mu kulwanyisa mukenenya, naddala okukubiriza abavubuka, abasajja naabalenzi okujjumbira okwekebeza nokumanya bwebayimiridde, kisobozese okulwanyisa obulwadde mu bawala n’abakayala.
Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole ekirwanyisa siriimu mu Uganda ekya Uganda Aids Commission, agamba nti eddoboozi lya Kabaka likoledde ddala kinene, era balina esuubi nti omwaka 2030 wegunaatukira nga babulinnye ku nfeete.
Dr. Musooba era agamba nti enkola ng’emisinde gy’obwakabaka, n’obubaka Kabaka bwabadde atuusa ku bantu bukoze kinene mu kulwanyisa akawuka.
Akubirizza abavubuka okubeera obulindaala eri obulamu bwabwe, obutamala gegatta na bawala, okwekebeza buli kadde okumanya webayimiridde,okukozesa akapiira, n’okubeera abesigwa eri abagalw babwe.