
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda era Omuwanika Owek.Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abantu okukulembeza obuntu bulamu mu byonna byebakola, okutuuka ku bintu ebirabikanga ebitasoboka.
Annyonyodde nti Obumu y’ensonga ey’okutaano eya ssemasonga z’obwakabaka kwebutambulira, okusitula embeera z’abantu nga bakolera wamu.
Agambye nti eggwanga terisobola kuba bulungi, ng’abantu abamu bali mu bulamu bulungi l ng’abalala bayagga.

Owek.Waggwa abadde ku kyalo Mwolole ekisangibwa ku kizinga Buggala mu saza lye Ssese,ku mukolo bannarotary kwebaweereddeyo ennyumba gyebazimbidde omukyala Nakamaanya Experita n’abaana.
Kitegerekese nti Nakamaanya abadde amaze ebbanga nga talina nnyumba, abadde asula mu binazi mwabadde ateeka essanja n’ebiveera mw’abadde asula n’abaana.
Ennyumba gyebazimbidde Nakamaanya eteereddwamu ebikozesebwa ebirala,omuli ebitanda,emifaliso n’ebikozesebwa ebirala mu bulamu obwa bulijjo.

Mukyala w’owek Nsibirwa era nga yaliko minister w’obulambuzi mu Buganda Owek.Ritah Namyalo Waggwa yeyamye okuweerera omu ku baana ng’amusasulira buli kimu okumala emyaka esatu.
Owek.Waggwa era asuubizza nti Obwakabaka era bwakuyambako omwana omulala okukuguka mu masomo g’ebyemikono.
President wa Rotary Club ye Ssese Paul Ssemanda asabye abantu abalala bonna okwongera okukwasizaako abaana abawala basome nga babafunira ebyokukozesa, n’okulwanyisa omwenge n’ebiragalalagala mu bavubuka.
Mu ngeri yeemu waliwo abantu abasiimiddwa olw’okwewaayo akensusso nebaweereza emirimu gya rotary.
Bakwasiddwa ebbaluwa ezibasiima ku kabaka akabadde ku Mirembe resort beach Hotel e Kalangala.
Abasiimiddwa kuliko Dr.Frank Kisaakye, Ibra Ssenyonga, Nannyondo Milly,Omuk.Josephine Nantege omuteesiteesi omukulu bwakabaka bwa Buganda, Rebecca Nambaale n’abalala.