Ebizinga bye Ssese bifunye ekyuma ekisookedde ddala ekisunsula emmwanyi, mu kawefube w’okwongera okusitula n’okukuuma omutindo gw’emmwanyi.
Ekyuma kino kiri ku kyalo Bweya Kibanga ku kizinga Buggala mu district ye Kalangala.
Ssese okutwaliza awamu aliko ebizinga 86.
Abalimi b’emmwanyi mu bizinga bye Ssese emmwanyi zabwe babadde bazitwala Masaka ne district eziriraanyeewo, abalimi n’abasuubuzi kye bagamba nti kibadde kibakaluubiriza okuzitambuza.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda era nga ye ssentebe w’abasuubuzi b’emmwanyi mu Uganda Owek.Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde alambula ekyuma kino yebazizza omutandisi wakyo Paul Ssemanda n’omukyala Josephine Nantege.

Owek. Nsibirwa agambye nti Obwakabaka bwa Buganda buzze bukubiriza abantu okulima emmwamyi era bangi bazijjumbidde, era nga mu kiseera kino omutendera gwebuliko gw’egwokukubiriza abantu okukuuma n’okuzongerako omutindo.
Ku mutendera guno mulimu okunoga emmwanyi ezengedde obulungi,okuzaanika ku matundubaali, okuzitereka mu bifo ebikalu obulungi n’okuzitundira ku mutendera gwa kase nga zivuddeko akakuta mu kifo ky’okutunda kibooko.
Owek.Nsibirwa agambye nti obulimi bw’emmwanyi butambulira wamu n’ebirime ebirala, era obukuta obuva ku mmwanyi bagala abantu babukozese okubikka ensuku n’okwongeramu obijimu.
”Nsanyukiddeko aba Ssese nti bwebabeera n’ekyuma okumpi mu kitundu,basobola okutwala obukuta bwabwe nebabussa mu nnimiro, kyokka era basobola n’okubwetundira kubanga bwattunzi eri abokya amanda, abakola cement ne ssabuuni kubanga bulwawo okuzikira” Owek.Waggwa Nsibirwa.

Paul Ssemanda agambye nti okusoomozebwa okubaddewo kwekuba nti aba Ssese abasinga obungi baali badduka mu kulima emmwanyi nga bonna bemalidde ku binazi byokka.
Akikkaatiriza nti naye kati balina essuubi nti abantu baawulira ekiragiro ky’obwakabaka ekikubiriza abantu okulima emmwanyi mu nkola ya Mmwanyi Terimba, era bangi bazzeemu okuzirima.
Mu kiseera kino ekyuma kino kikuba emmwanyi ezikunukkiriza okuwera ttani emu, wadde nga kirina obusobozi obukuba ttani ssatu buli lunaku.