
Olukiiko oluddukanya liigi ya babinywera eya Uganda Premier League lulonze omuzannyi wa club ya Vipers, Cesar Manzoki ng’omuzannyi asinze banne okucanga endiba season ewedde eya 2021/2022.
Cesar Manzoki okutuuka ku buwanguzi buno, yeyasinze okuteeba goolo ennyingi zaabadde 18.
Manzoki era yeyasinga okusaawo emikisa egivamu goolo 9. Yaliko omuzannyi w’omwezi omulundi gumu ate ne ‘man of the match’ emirundi 8.
Omukolo gw’okukwasa engule eri abasinze bannabwe season ewedde gubadde ku Kati Kati e Lugogo mu Kampala.
Ssaabawandisi wa National Council of Sports Patrick Bernard Ogwal yabadde omugenyi omukulu.
Omutendesi wa Vipers, Roberto Oliviera ye mutendesi asinze banne.
Omuzannyi wa Onduparaka Shaban Muhammed abatendesi gwebaalonze asinze bazannyi banne.
Richard Anyama owa Arua Hill ye mukwasi wa goolo asinze.
Halid Lwaliwa owa Vipers ye muzibizi asinze.
Siraje Ssentamu owa Vipers ye muwuwutanyi asinze.
Cesar Manzoki ye muteebi asinze.
Rishid Kawawa owa Arua Hill ye muzannyi omuto asinze.

Dr.Lawrence Mulindwa president wa club ya Vipers eweereddwa engule ey’okuntikko eya Platinum award
Abazannyi 11 abasinze ye Richard Anyama owa Arua Hill, James Begisa owa UPDF FC, Herbert Achai owa KCCA, Halid Lwaliwa owa Vipers, Bright Vuni owa Arua Hill, Siraje Sentamu owa Vipers, Milton Karisa owa Vipers, Bobosi Byaruhanga owa Vipers SC, Cesar Manzoki owa Vipers, Simon Peter Oketch owa BUL FC ne Muhammad Shaban owa Onduparaka.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe