Ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, awanjagidde government okwongera okusiga ensimbi mu bintu ebigattira awamu abavubuka okubakomya okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.
Ssabalabirizi agamba nti abavubuka bangi balina ebitone ebyenjawulo, wabula olwokubulwa obuwagizi n’obusobozi obuggusa byebabeera batandiseeko, bibaleetera okugwamu esuubi nebadda mu mu kwenyigira mu bumenyi bw’ateeka n’okukozesa ebiragalalagala.
SsaabalabiriI Kazimba anokoddeyo ebyemizannyo, okuyimba ne katemba byagambye nti singa bissibwamu ensimbi ezegasa bisobola okuwa abavubuka emirimu.
Agambye nti ebintu ng’ebyo bisobola bulungi n’okuyamba government okulondoola enneyisa y’ababuvubuka n’okumanya byebetaaga mu budde.
Ssaabalabirizi abadde ku mukolo gwa bannamawulire abagasakira mu Kampala kwebazanyidde omupiira n’abaweereza b’ekkanisa mu bulabirizi bwa Kampala.
Omupiira guno guubadde ku kisaawe kya Kampala mukadde.
Omupiira guno gw’egumu ku bijaguzo eby’okukuza emyaka 50, bukya obulabirizi bwa Kampala bukutulwa ku bulabirizi bw’e Namirembe mu kkanisa ya Uganda.
Ebikujjuko bino byakukomekerezebwa mu mwezi gwa August omwaka guno.
Ssabalabirizi Dr Samuel Steven Kazimba, agambye nti bannamawulire bayambye nnyo okubunyisa enjiri ya mukama mu bantu babulijjo.
Rev Canon John Awudi, omuteesiteesi omukulu mu bulabirizi bwa Kampala, agambye nti omupiira guno byebimu ku lujji lw’enkolagana wakati wa bannamawulire n’abaweereza mu bulabirizi bwa Kampala mu kutuukiriza obuweereza obwenjawulo.
Omupiira gugenze okukomekkerezebwa nga bannamawulire mu tiimu ya Kampala Journalists bawangudde, abawereza mu kkanisa ya Uganda ku goolo 3 – 0.
Bisakiddwa : Davis Ddungu