
Munnakibiina kya FDC Rtd Col. Dr. Kiiza Besigye ne munne Samuel Lubega Mukaaku bazzeemu okusindikibwa ku meere e Luzira, kkooti ya Buganda Road egobye okusaba kwabwe Okwokweyimirirwa ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu.
Besigye ne Mukaaku nga bayita mu bannamateeka baabwe abakulemberwamu Erias Lukwago basabye kkooti ekkirize ebayimbule ku kakalu akatali ka nsimbi, nti kubanga baali bayimbulwa gyebuvuddeko ku misango gyegimu egyokukuma omuliro mu bantu.
Babadde baleese ababeyimirira 4 okubadde amyuka Lord Mayor Doreen Nyanjura, sulaiman Kidandala, nabalala.
Wabula muwaabi wa government Ivan Kyazze asabye nti singa bano bayimbulwa bateekebweko obukwakkulizo obwamaanyi.
Mu nsala ye omulamuzi weddaala erisooka ku kkooti ya Buganda road Asuman Muhummuza agaanye okusaba kwabwe okwokweyimirirwa ng’agamba nti kkooti bagifudde kiyumba omuzannyirwa obuzannyo bwabwe obwebyobufuzi ekitayinza kukkirizibwa.
Omulamuzi agambye nti singa abayimbula kyangu kya kutandikira webaakoma, kwekubazza mu nkomyo okutuusa nga 1st omwezi ogujja ogwa July.
Bannamateeka baabwe abakulemberwamu Erias Lukwago bewuunyizza ensala yomulamuzi gyebagambye nti ekontana ne semateeka w’eggwanga.
Erias Lukwago agambye bagenda kuddukira bunnambiro mu kkooti enkulu bajulire ensala eno nti kubanga ebaddemu ebirumira bingi.
Besigye ne Mukaaku bakwatibwa kulwokubiri lwa wiiki eno mu kibuga Kampala,nga bemulugunya ku bbeeyi yebintu eyekanamye.