Abasirikale ba police ya Rwanda baliko omujjaasi wa DRC gwebakubye amasasi agamuttiddewo.
Rwanda egamba nti omujaasi ono yasaze ensalo naayingira munda mu Rwanda naasasira amasasi mu basirikale ba police ya Rwanda, ababadde bakuuma ensalo ya Petite Barriere mu district ye Rubavu, saako abantu ba bulijjo abaabadde basala ensalo.
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa ministry ya Rwanda eyebyokwerinda kinyonyodde nti omusirikale w’eggye lya DR Congo atanategerekeka bimukwaatako, attiddwa ng’ayingidde munda mu Rwanda mita 25.
Rwanda etegezezza nti abasirikale ba police yaayo babiri bebalumiziddwa.
Ministry ya Rwanda eyebyokwerinda mu kiwandiiko kino egamba nti bamaze etegeezeza ebitongole bya DRC ebikwatibwako ensonga eno ,nga nookunonyereza bwekugenda mu maaso.
Rwanda ne DR Congo ensangi zino tebakyalinnya mukimu, government ya DRC erumiriza eya Rwanda okuvujirira abayeekera ba M23 abatigomya Congo.
Embeera y’abakuuma ddembe okuwanyisiganya amasasi kijjidde mu kiseera, nga bannansi ba DRC baatanula okwekalakaasa mu bibuga byabwe ebiwerako, nga bagala amagye gonna amagwiira okwamuka eggwanga lyabwe.
Bagamba nti amawanga agalina amagye mu DRC nti ate bebawagira obubinja bw’abayeekera abajojobya eggwanga eryo.
Olunaku olweggulo ,president wa Kenya era ssentebe w’omukago gwa East Africa Uhuru Kenyata, yalagidde eggye ery’omukago erya East African Stand By Force liyiibwe mu bitundu bya DRC okuli Ituri ,Kivu nebirala obubinja bwabayeekera byebasinga okwetiribooseza ,gattunke nabo
Wabula amawulire agava mu DRC galaga nti ababaka ba parliament ya DRC baalabudde dda president wa Kenya ku nteekateeka eno nga bagamba nti yandisajjula embeera.