Amasasi gamyoose mu katale k’ente ake Kifampa mu district ye Gomba, entabwe evudde ku nkaayana zerinnya ly’akatale n’ekifo wekalina okubeera.
Kifampa yafuulibwa egombolola ng’ekutulwa ku ye Kabulasoke.
Kati ensalo z’egombolola zombi ziri mu kitundu ewali akatale k’ente akakadde, era kaasigadde mu gombolola y’e Kabulasoke eyasookawo.
Egombolola ye Kifampa nayo yasazeewo okutondawo akatale akaayo nekawa erinnya erya Kifampa mubuulo market, nebuliraanigana era bukola ku lunaku lwe lumu ekireseewo okusika omugwa, ng’egombolola zombi ziyayaanira okufuma omusolo oguva mu nte.
Ekireseewo enkayana ye gombolola ye Kifampa okugaana ente zonna eziva mu gombolola eyo okutundibwa mu katale akali ku ludda lwe Kabulasoke ekiddiridde kulwana okw’amaanyi,police nekuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.
Ssentebe w’egombolola ye Kifampa Ssebwami Christopher agambye nti kyebagala kyokka kwekusigaza erinnya lyabwe erye Kifampa, Kabulasoke efune eryayo.
Wabula ssentebe w’egombolola ye Kabulasoke Ali Kisekka agaanye okubaako kyayogera ku nsonga eno.