Abayizi b’essomero lya St.Johns Progressive SS Kaliiro Lyantonde abeekalakaasa nebonoona ebintu bya bukadde 41, balagiddwa okusooka okuzisasula, balyoke bakkirizibwe okudda ku ssomero.
Mu lukiiko lw’abazadde n’abakulembeze ku district n’abakulira essomero basazeewo nti abayizi 30 abaakuliramu okwekalakaasa bakusasula emitwalo 200,000/= so ng’ate abayizi ba S4 ne S6 ab’ekisulo baakusasula emitwalo 100,000/=so nga ate abayizi abava ewaka abalenzi baakusasula emitwalo 50,000/= ate abawala baakusasula emitwalo 20,000/=.
Wiiki ewedde abayiI bekalakaawa mu kiro kya sunday ng’abayizi bagamba nti baalwawo okubaggulirawo geeti nga bava okusoma ekiro ‘preps’, ate abalala bagamba nti emmere eyafumbibwa kw’olwo yali mbi, waliwo n’abagamba nti mwalimu abaali besiye amagengere.
Omwogezi wa poliisi mu bendo-bendo lye Masaka Muhammad Nsubuga agamba nti okunoonyereza ku byaliwo kukyagenda maaso, era nti abaakuma omuliro mu kwekalakaaaa kuno baakuvunaanibwa mu mbuga za mateeka.

Ssentebe wa district ye Lyantonde era nga ali ku lukiiko oluddukanya essomero Fred Muhangi, asabye abazadde okwongera okubuulirira abaana babwe okubeera n’empisa okwewala okuleeta emize emibi mu ssomero.
Abayizi ababadde baggalirwa mu buduukulu bwa police baayimbuddwa ku kakalu ka Police.
Balagiddwa okweyanjula ku police ng’ennaku z’omwezi 27 June,2022.
Ebyo nga biri bityo, waliwo abayizi 4 aba St.Gonzaga Kijjukizo nabo baggaliddwa mu nkomyo, nga kigambibwa nti baakuba era nebalumya omukuumi w’essemero.