
Omuyimbi Grenade Official agamba nti ekirooto kye kyakuwangula ku ngule eya Grammy award, era alina essuubi nti wakugiwangula ayongere okufuuka omuyimbi ow’ensonga.
Grenade agamba nti omutindo gw’afulumizaako ennyimba ze guli waggulu ddala, nga wanaatuukira okuwangula ku ngule wyo, ng’alina kyalagawo.
Grammy awards ngule eziweebwa abantu ab’enjawulo abalina kyebakoze mu kisaawe ky’ebyokuyimba nga bali mu America.
Grenade afulumizzaayo album empya “extended play” eriko ennyimba empya 6.
Grenade abadde mu programme ya Evenning Cruiz ku CBS Emmanduso ne Dikteta Mark,n’agamba nti azze yetegereza omuyimbi Eddy Kenzo gweyegomba, embeera gyayiseemu n’engule zawangudde, era naye alina essuubi nti wakuziwangula.

Grenade Official ng’amannya ge agaamuwebwa bazadde be ye Deus Ndugwa agambye nti yazaalibwa nga 14th July 1997 e Lyantonde.
Agambye nti teyafuna mukisa kusomako, olw’embeera yasalawo okugenda ku nguudo zomu Kampala ngaalya ku kukasasiro, kweyamala obulamu bwe obw’obuto n’obuvubuka.
Ku myaka 8 egy’obukuku kwetandikira okuyimba okw’omuzinzi, n’ayiiya akayimba keyatuuma “ndi muto mannyi okuyimba”.
Yamala ekiseera ng’abeera n’omuyimbi Big Eye, nti era yeyamutuuma erinnya eryo erya Grenade, nasalawo okugenda nalyo mu maaso era lyerikola ensimbi.
Grenade Official agambye nti kimuluma okuba nga teyasoma, era n’akubiriza abaana n’abavubuka abakyalina omukisa gw’okusoma, bagukozese basome, ate bawe n’abantu abalala ekitiibwa naddala ababasinga obukulu.
Ennyimba ezisinga okumunyumira:
1.Wewanika – Grenade
2.Follo – John Blaq
3.Picha – Grenade
4.Walwawo – Pincky
5.Kanzu – Fic Fameica
6.Alright – Grenade
Bonus track – simanyi lwa Mesach Ssemakula
Grenade Official ayimbira mu Team No Sleep TNS ewa Jeff Kiwa, wadde nga baali baayawukanamu, naye kati yazzeeyo.
Bikunganyiziddwa: Musa Kirumira