
President wa Kenya Uhuru Kenyatta nga ye ssentebe w’omukago gwa East Africa alagidde eggye eryawamu ery’amawanga gannamukago erya ‘East Africa stand by force’ okugenda okukwasizaako erya Democratic Republic of Congo okuzza emirembe mu ggwanga eryo.
Eggye limu lyakusinga kuyiibwa mu bitundu bye North Kivu, South Kivu ne Ituri obubinja bwabayeekera naddala aba M23 gyebwegiriisiza.
Uhuru Kenyatta mu kiwandiiko kyafulumizza nga ssentebe womukago gwa East Africa, agambye nti obutali butebenkevu mu buvanjibwa bweggwanga lya DRC mu bitundu bye Ituri ne Kivu butadde ebyokwerinda by’amawanga gannamukago mu katyabaga.
Amagye agagenda okuyiibwa mu bitundu ebyo aga East African Stand By Force gabadde mu Uganda mu kibuga kye Jinja, mu kutendekebwa okwenjawulo.
Guno gwemulundi ogugenda okuba ogusoose ng’amawanga gano gakolera wamu, okuva abakulembeze lwebaasalawo okutondawo eggye eryawamu.
Omwezi ogwokuna omwaka guno 2022 abakulembeze b’amawanga ga East Africa mu nsisinkano eyali e Kenya ,baalagira obubinja bwabayeekera okussa wansi ebyokulwanyisa babiweeyo eri government ya DRC.
Wabula nookutuusa kati teri kabinja konna kaali kakikoze ,emmundu yeyongera kuseka.
Ennaku 2 eziyise abayeekera ba M23 baatuuse n’okuwamba akabuga ke Bunagana ku nsalo ya Uganda ne DRC.
Mu nsisinkano eyo eyetabwaamu ne president wa DRC Felix Tkisekedhi ,obubinja bwabayeekera bwagaana okugyetabamu newankubadde bwayitibwa.
Uhuru Kenyatta agambye nti eggye ly’omukago nga likolera wamu n’obukulembeze mu bitundu ebyo ebya Kivu ne Ituri lyakuggya emmundu nebyokulwanyisa ebirala ku bantu bonna ababirina nga tebyabaweebwa government ta DRC.
Ekiragiro Kya Uhuru Kenyatta kijjidde mu kiseera nga DRC ne Rwanda bannamukago guno tebakyalinnya mu kimu.
DRC erumiriza Rwanda okuvugirira obubinja bwabayeekera naddala aka M23.
Rwanda nayo nnaku ntono eziyise yalumiriza amaggye ga DRC okuwamba abajaasi b’eggye lya Rwanda , nookusindiika ebikompola mu Rwanda.
Mu kiseera kino tekinamanyika oba nga Rwanda enaasindiika amaggye gaayo okwegatta ku maggye gannamukago, okwanganga abayeekera aboogerwako.
Embeera eno ereeseewo okusoomozebwa mu mawanga gannamukago, nga kigambibwa nti nabakulembeze mu mawanga ago baliko oludda lwebawagira wakati woobubinja bw’abayeekera ne Government ya DRC.