
Amagye ne police bazinzeeko amaka agagambibwa okuba aga Akubar Kabanda e Kikubajinja Kasana Piida mu Luweero, nga kigambibwa nti yagafuula nkambi y’a bayeekera ba ADF.
Amagye gafuuzizza ekifo kyonna, gyegasanze empuku egambibwa okuba nga mwebabadde batereka eby’okulwanyisa n’okukola bbomu.
Kigambibwa nti empuku eno mwassibwamu ebintu ebiyamba amasasi obutavuga nga batendekebwa, saako n’ebintu ebisaabulula akasu k’obuganga bw’amasasi obutawunya.

Mu ngeri yeemu kitegerekese nti enkambi eno ebadde yategekebwa mu ngeri y’amaka, nga mulimu n’abakyala n’abaana.

Omwogezi wa UPDF Brig. Gen Felix Kulayigye ategezezza nti abaana abasangiddwayo abali wakati w’ekyaka 4 – 6, babadde bamanyi bulungi okupanga n’okukuba emmundu.
Kulaigye agambye nti omu ku basajja abakwatiddwayo, yoomu ku baali n’omusajja eyatega bbomu ku CPS mu Kampala ku nkomerere y’omwaka gwa 2021.

Omu ku bakyala abasangiddwawo Mariam Night ategezezza CBS nti omwami we ye Umar Kabonge yakwatibwa amagye mu mwezi gwa February 2022, era n’okutuusa kati tamanyi bimukwatako.
Mariam bwabuuziddwa ku mpuku esangiddwa ewaka, agambye nti omwami we yali yamugamba nti kyali kisimiddwa nga kinnya kya Kabuyonjo, nebasalawo obutajikozesa.

Ekinnya kino kiri wakati wa fuuti nga 13 – 15.
Abasajja basatu abagambibwa okuba nti bebabadde batendeka abayeekera ba ADF mu kifo kino baleeteddwa nebalagibwa bannamawulire, oluvannyuma bajiddwawo nebassibwa mu mmotoka ezaakazibwako eza Drone nebatwalibwa amagye.

Brig.Felix Kulaigye agambye nti bakyaliko abantu abalala bebakyekennenya.
Akulira eby’obutebenkevu ku kitundu kye Kikubajinja Kivumbi Abdu agambye nti, wadde amaka gano gabadde gamazeewo ebbanga erisoba mu myaka 10, nnyini waago omutuufu babadde tebamumanyi, wabula nga negwebabadde bateebereza okuba mnyinigo baakamulabako omulundi gumu gwokka.