
Ministry y’eby’obulamu emalirizza enteekateeka z’okusaawo ekitongole ekyawamu ekivunaanyizibwa ku mmotoka za Ambulance zonna mu ggwanga, okusobozesa abalwadde okutuuka amangu mu malwaliro.
Ambulance zonna okuli eza government nezobwannanyini zigenda kussibwako ennamba y’emu eya UG.
Ministry y’eby’obulamu egamba nti kino kyakwanguyizaako abavuga emmotoka ezo okukola ku balwadde abali mu bitundu mwebali, nokubatuukako amangu.
Enteekateeka eno eyanjuddwa minister w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, abadde ku kitebe kya ministry y’eby’obulamu, ng’akwasibwa ambulances 2 ezibalirirwamu obukadde bwa shs 481 (US$130,000).
Ziweereddwayo ekitongole ky’amawanga amagatte ekivunanyizibwa ku muwendo gy’abantu ekya United Nations Population Fund, (UNFPA), nga ziguliddwa ebitebe bya gavumenti ya Japan neya Budaaki (Netherlands) mu Uganda.
Dr. Acheng agambye nti ambulance eziguliddwa zakuyambako okutaasa abakyala ab’embuto, okuddusibwa mu malwaliro okuva mu masoso g’omubyalo.
Ambulance emu egenda kutwalibwa mu ddwaliro lya Palabekkal Health Center III mu district ye Lamwo ne ku Rukunyu Hospital mu district ye Kamwenge.
Dr. Mary Otieno, nga yakiikiridde ekitongole kya UNFPA ku mukolo guno, agambye nti ekitebe kya Budaaki (Netherlands) mu Uganda era kyawaddeyo obukadde 471 mu buvujjirizi buno, nga zino zaguze computer 90, Printer 90, nebyuuma ebiyambako mu kutambuza internet 90, nga bino byakutwalibwa mu malwaliro mu bendobendo lya West Nile ne Acholi

Omubaka wa Japan omujja mu Uganda, Ambassador Fukuzawa Hidemoto, asinzidde ku mukolo guno, naagambye nti obuvujjirizi bwebawaddeyo bugendereddemu okukwasizaako abantu abaakosebwa omuggalo gwa Covid 19 mu byobulamu.
Asuubizza nookwongera okukwasizaako Uganda mukulabirira abanoonyi b’obubudamu ab’eyongedde mu ggwanga.
Bisakiddwa : Ddungu Davis