
Abantu bataano bafiiridde mu mugga Kiyira, eryato kwebabadde basaabalira libayiye mu mazzi.
Abatuuze babadde batuuze ku kyalo Lower Naava mu Njeru division mu district ye Buikwe.
Ku lyato kubaddeko abantu 11 babadde bava Kimaka mu kibuga Jinja, okudda ku mwalo gwa Lower Naava mu Njeru.
Okusinzira ku baddukirize abakulembeddwamu Margret Mukasa ne Charles Okello, eryato libaddeko abantu n’omusenyu ogukozesebwa okukola obujjo (tiles), ng’akabindo kandiba nga kekalireetedde okubabbika mu mazzi.
Maurice Isabirye omugoba w’eryato agambye nti entabwe evudde ku mukyala eyenyenyezza neriItowa oludda olumu, olwokuba nti libadde litisse olwo eryato nerimutabukako.
Omwogezi wa Police mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto ategezezza nti abantu mukaaga basimattuse n’ebisago eby’amaanyi.
Police ngeri wamu n’abalunnyanja bali ku mulimu gwomunoonya abagudde mu mugga.